TOP
  • Home
  • News
  • Abasiraamu beddizza ettaka ne basimbako ne bipande ebirabula

Abasiraamu beddizza ettaka ne basimbako ne bipande ebirabula

Added 15th April 2021

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka ly'Obusiraamu eryatundibwa abakulembeze abazze babeerawo.

Bano beddizza ne ofiisi ne balangirira nti ekitebe ky'Obusiraamu mu disitulikiti y'e Mukono kikomyewo e Kiyunga we kyasookera mu 1972 era nga kyabaweebwa eyali pulezidenti wa Uganda omugenzi Idi Amin Dada.

Ettaka lyabwe okuli ery'ekitebe e Kiyunga, yiika lyatundibwa, e Kireeba ne Kazinga nalyo lyatundibwako ssente abakulu ne bazirya.

Bagenze basimba obupande ku ttaka eryatundibwa abantu ne basengako kati obupande obussiddwaako bulaga nti ettaka eryo lya Uganda Moslem Supreme Council.

Abasiraamu bazze beemulugunya ku ngeri ensonga z'Obusiraamu gye zaali zitambuzibwa mu disitulikiti y'e Mukono nga muno mulimu eby'okutunda ettaka, okukyusa ofiisi n'etwalibwa e Mukono olwo ofiisi z'ekitebe entongole ezisangibwa e Kiyunga ne zirekebwa awo nagalaale ne zituuka n'okumeramu ebiswa.

Basoose mu lukiiko lw'abakulu b'amatwale olwakubiriziddwa ow'ettwale ly'e Nakifuma, Sheikh Hassan Kaggwa n'oluvannyuma ne balongoosa ofiisi zino basobole okuddamu okuzikozesa era ne balangirira nti kati bazeddizza.

Omuwandiisi w'ettwale ly'e Ntenjeru, Haruna Nandala agamba nti ebigenda mu maaso byonna ku nsonga z'Abasiraamu e Mukono baazitegeezezza Mufti Sheikh Shaban Ramathan Mubajje era yawadde abasiraamu b'omu kitundu amagezi bazitereeze.

Nandala agamba nti ettaka okutudde ekitebe kyabwe e Kiyunga lyali yiika 42 wabula kati zaasigala mukaaga nga lyonna abakulembeze baalitunda kujjudde mayumba.

Basabye Mufti Sheikh Shaban Ramathan Mubajje obutabalekerera mu nsonga zino oz'okununula ebintu by'Obusiraamu.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...