TOP
  • Home
  • News
  • Lukyamuzi ne Kasibante bavuddeyo ku misolo emipya

Lukyamuzi ne Kasibante bavuddeyo ku misolo emipya

Added 15th April 2021

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante.

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka gwa 2021-2022, n'ebawa gavumenti amagezi  okusala ku mbalirira yaayo n'abakozi.

John Ken  Lukyamuzi eyali omubaka wa Lubaga South ne Joseph Kasibante pulezidenti w'ekibiina kya National Tax Payers Protection be bakulembeddemu Bannayuganda okuwakanya emisolo gino.

Lukyamuzi yategeezezza nti kikyamu Minisita w'ebyensimbi okuvaayo mu kiseera kino n'alangirira emisolo emipya ng'abantu bakyali mu kulwanagana na mbeera ya Covid-19 eyadobonkanyizza ennyo ebyenfuna bya bantu ssekinnoomu.

Yagambye nti okuteeka omusolo ku bidduka okuli pikipiki ne mmotoka kikyamu kubanga bano bawa omusolo ku sipeeya, amafuta n'ebirala nga kitegeeza nti okubateekako omusolo kubeera kubasasuzza mirundi ebiri ekitakkirizibwa mu mateeka.

Yayongeddeko nti kino tekikoma mu kutyoboola ddembe lya buntu kyokka wabula kinyigiriza embeera z'obuntu ezaabulijjo ate ng'abantu abasinga obungi balimi.

"Omwaka oguwedde gavumenti yasonyiwa kkampuni ez'enjawulo emisolo gya buwumbi 809 awatali kuwa nsonga nnambulukufu, ssente zino zaali zisobolera ddala okukozesebwa gavumenti awatali kunyigiriza Bannayuganda.''Lukyamuzi bwe yategeezezza.

Yagambye nti gavumenti yandibadde ekendeeza ku  nsaasanya yaayo mu minisitule zaayo ez'enjawulo, okukendeeza ku muwendo gw'ababaka, embalirira y'amaka gw'obwa pulezidenti n'ebirala okusobola okutaasa Bannayuganda.

Ye Kasibante yagambye nti ekibiina kyabwe kivunaanyizibwa okulwanirira abawi b'omusolo era tebawakanya kyakuwa musolo naye Bannayuganda tebalina kyebafuna mu musolo ogubasoloozebwamu.

Abantu okudduka mu bizimbe mu Kampala kabonero akakasa nti embeera y'ebyenfuna si nnungi mu ggwanga naye gavumenti eremeddwa okukiraba ate neeyongera okubabinika emisolo nga n'ogw'ebizimbe gunyigiriza mupangisa.

Bino webijjidde nga minisita w'eby'ensimbi yalangiridde emisolo emipya ku bantu abakozesa yintanenti ogw'ebitundu 12 ku 100, okuzzaawo omusolo ku bidduuka, omusolo ku nuuni n'ebirala.

Bano kati bategesse okwekalakaasa okw'emirembe nga April 29. Bayise Bannayuganda bonna abalumirirwa eggwanga okubeegattako mu kutambula okw'emirembe okuva ku City Square mu Kampala okutuukira ddala ku ssomero lya Nakivubo Blue Primary School wakati w'essaawa 4:00 ez'oku makya 7:00 ez'emisana.

 

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...