TOP
  • Home
  • News
  • Bannaddiini musse ekitiibwa mu buwangwa nga Ssaabasumba bw'abadde- Gabunga

Bannaddiini musse ekitiibwa mu buwangwa nga Ssaabasumba bw'abadde- Gabunga

Added 15th April 2021

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Omutaka Gabunga, Mubiru (wakati) ne Benon Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono.

Gabunga,yasinzidde ku Lutikko e Lubaga mu Mmisa eyategekeddwa ab'ekika ky'e Mmamba okusabira abadde Ssaabasumba w'essaza ekkulu erya Kampala kati omugenzi, Dr. Cyprian Kizito Lwanga n'amwogerako ng'omuzzukulu abadde assa ekitiibwa mu buwanga bwe.

Gabunga, yategeezezza nti okufa kwa Ssaabasumba Lwanga ddibu ddene nnyo mu kika ky'Emmamba olw'engeri gy'abaddde aweerezaamu ekika kye awatali kwekuluntanza nakuyisa lugaayu mu bajjajja be abamulambika mu nnono.

Gabunga yanokoddeyo nti Ssaabasumba Lwanga abadde yenyigira butereevu mu mikolo gyonna egy'ekika era ng'agoberera ennono zonna nga bwe zirambikiddwa awatali kwegulumiza wadde ng'abamu ku Bannaddiini eby'obuwangwa tebabitwalanga ensonga n'asaba bonna okuyigira ku mugenzi Lwanga nga bw'abadde.

Ye omuwandiisi w'ekika ky'Emmamba, Andrew Benon Kibuuka,yasinzidde wano n'alaajanira Klezia okwongera okukwasizaako ekika ky'Emmamba nga Ssaabasumba Lwanga bw'abadde akola nti era abadde abawa ekifo kya Pope Paul Gardens okutuulizaayo enkiiko z'ekika awatali kubasasuza wadde ekikumu n'asaba omwoyo ogwo gusigale nga gutambula.

Mgr. Kasibante, eyakulembeddemu Mmisa, yasiimye Gabunga olw'okwagala muzzukulu we Ssaabasumba Lwanga n'asalawo okukulemberamu bazzukulu be okumusabira ekitambiro kya Mmisa.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...