TOP

KCCA ne Villa zeenyooma

Added 18th April 2021

Ggoolokipa wa KCCA Charles Lukwago ng’abuuse okulemesa aba Villa okumuteeba.

Ggoolokipa wa KCCA Charles Lukwago ng’abuuse okulemesa aba Villa okumuteeba.

Egyazannyiddwa mu liigi
URA 3-1 BUL
Kitara 0-3 Vipers
Leero (Ssande)
KCCA - Villa, Lugogo 10:00

KCCA ne Villa bambalagana leero (Ssande) mu StarTimes Premier League. Omupiira guli Lugogo, nga gulimu ebikulu eby'enjawulo ebigubuutikidde. Ttiimu zombi
tezirima kambugu olwa buli emu okulowooza nti y'esinga okuzannya omupiira.

Villa egamba nti ye kabaka wa liigi kuba yerina ebikopo ebingi (16), wabula KCCA egamba nti ennaku zino omupiira gw'okwogerera gwavaawo, nga bikolwa n'ebikopo
bya buli sizoni bye bisinga.

Villa emaze emyaka 16 (yasemba 2004) nga terina kikopo, kyokka KCCA mu myaka egyo ewanguliddemu ebya liigi 6 n'okutuuka mu bibinja bya CAF Champions League.

Morley Byekwaso, atendeka KCCA ali ku kigezo ekyokubiri ku ttiimu ennene, oluvannyuma lw'ekyasooka okumulema, bwe yakubidwa URA ggoolo 2-0. Sizoni
eno KCCA tennakuba ku ttiimu ennene.

Ekubiddwa URA eka ne ku bugenyi, eremaganye ne Express (1-1), yakubwa Vipers (1-0) ne Villa (2-1) mu gwasooka, sso nga ne Police yamulema okukuba.  Morley alina okuwangula Villa okumalawo kino.

Ekiyinza okuyamba KCCA bye byafaayo byayo ebirungi ku Villa e Lugogo. Bukya KCCA etandika kuzannyira mu kisaawe kino, Villa tefunangawo wiini. Ogwasembyeyo
sizoni ewedde, KCCA yawangudde ggoolo 4-1.

Ng'oggyeeko ebyo, obubonero bukulu nnyo eri ttiimu zombi kuba zirwana kusemberera bakulembedde.

KCCA yaakutaano ku bubonero 30 era ekyalina essuubi ly'ekikopo ng'egamba nti ekyasobola okukungaanya obubonero 5
Vipers ne URA bwe bagisinza. Villa yaamukaaga ku 29.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...