TOP
  • Home
  • News
  • Abadde adduka ekikwekweto afiiridde mu nnyanja ya Kabaka

Abadde adduka ekikwekweto afiiridde mu nnyanja ya Kabaka

Added 18th April 2021

Ennyanja ya Kabaka.

Ennyanja ya Kabaka.

ABADDE adduka ekikwekweto kya poliisi ne LDU mu Ndeeba agudde mu nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba n'afiiramu.

Brian Ssemakula 29, mutuuze w'omu Kayanja zooni mu Munisipaali y'e Lubaga okugwa mu nnyanja yabadde adduka poliisi eyabadde ekola ekikwekweto ku banywa enjaga mu bitundu ebyo.

Bino byabaddewo ku Lwokuna akawugeezi ku ssaawa 5:30 ez'emisana. Poliisi okuva mu Ndeeba yabadde ekulembeddwamu Namulondo.

Fred Ssemyalo mukwano gw'omugezi yategeezezza nti abaserikale baabadde naba LDU ne bagya okumpi ne we booleza emmotoka ne batandika okukwata abantu nga bagamba nti banywi ba njaga ne bagoba Ssemakakula kyokka omugenzi nagwa mazzi okwagala okubeetaasaako.

Poliisi bwe yalabye gw'ebadde egoba abulidde mu mazzi, yasazeewo kutwala abavubuka abalala ababadde bozza emmotoka nga mu kiseera kino bakuumirwa ku poliisi mu Ndeeba.

Abatuuze bakumye olumbe okumpi n'ennyanja okutuusa ku makya g'Olwokutaano bwe baazudde omulambo gwa munnaabwe. Yaziikiddwa Ssemuto.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...