TOP
  • Home
  • News
  • Aba NUP bamalirizza olusirika lwabwe ne bawakanya lipooti ya Gavt. ku bawambiddwa

Aba NUP bamalirizza olusirika lwabwe ne bawakanya lipooti ya Gavt. ku bawambiddwa

Added 18th April 2021

Abamu ku ba NUP e Jinja.

Abamu ku ba NUP e Jinja.

PULEZIDENTI wa NUP, Robert Kyagulanyi Sentamu asabye bannakibiina abalondebwa ku mitendera egy'enjwulo naddala ababaka ba palamenti obutegulumiza n'obuteejalabya nga bagula ebintu eby'ebbeeyi ne beerabira abantu abaabateeka mu buyinza.

Yasinzidde mu lusirika lw'abeekibiina olwakomekkerezeddwa ku Lwomukaaga ku Nile Resort Hotel mu kibuga Jinja. Kyagulanyi yasabye ababaka okuweereza abantu abaabalonda n'omutima gumu n'obutabalyamu nkwe.

Omwogezi w'ekibiina Joel Ssenyonyi yategeezezza nti ttabamiruka ono baateserezaamu ensonga eziwera okuli n'ekyokulonda Sipika.

Ssenyonyi yakonye ne ku lipooti ya minisita w'ensonga zomunda mu gwanga Gen. Jjeje Odongo gye yasomedde palamenti ku Lwokuna ln'ategeeza nti yali nfu bwe yalaga nti gavumenti erina 58 ate nga ku bano nabamu baayimbulwa.

Yategeezezza nti bannakibiina bangi baggaliddwa mu makomera ag'enjawulo nakkaatiriza nti ne lipooti y'ekibiina omubaka waabwe Nsamba gye yasooka okusoma ng'abantu abakwatibwa abantu ab'emmundu ne babuzibwawo abali 423, gw'alinnya dda.

Yasabye minisita Jjeje okusooka okwetegereza lipota zawa eri egwanga era ono ayagala gavumenti enyonyole abantu ababuzibwawo sako nabo abalala abakwattibwa gyebali kubanga yeyoka elina emundu.

Yayambalidde ne bannakibina kya NRM abali e Kyankwazi bagamba nti bano be balina okutwalibwa mu kkomera kubanga e Kyankwazi bambala ebyambalo by'amagye mu lwatu.

Olusirika lwabaddemu ababaka abalonde, bassentebe ba disitulikiti bameeya n'abakulembeze ku mitendera egy'enjawulo.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...