TOP
  • Home
  • News
  • Abakristu batonedde minisita Ssempijja ebirabo okumwebaza okuzimba Klezia

Abakristu batonedde minisita Ssempijja ebirabo okumwebaza okuzimba Klezia

Added 18th April 2021

Abamu ku Bakristu b'e Kisitula nga bakwasa Minisita Ssempijja ebimu ku birabo oluvannyuma lw'Emmisa.

Abamu ku Bakristu b'e Kisitula nga bakwasa Minisita Ssempijja ebimu ku birabo oluvannyuma lw'Emmisa.

ABAKRISTU b'ekisomesa ky'e Kisitula mu Parish y'e Bwesa e Lwabenge mu Kalungu, batonedde  Minisita w'obulimi  obulunzi n'obuvubi Vincent Ssempijja ebirabo nga bamusiima okubadduukirira mu kuzimba Eklezia yaabwe.

Bano abakulembeddwaamu Ssaabakrisitu w'ekisomesa kino, Robert Ndawula n'omusomesa John Wasswa bamusiimidde mu Mmisa eyeetabiddwaamu Abakristu abawerako ne bamutonera ebirabo okuli; sseggwanga z'enkoko, amatooke n'ebirime ebirala wakati mu kusaakanya n'ennyimba ezitendereza Katonda.

Minisita Ssempijja Wabweru Wa Eklezia Gye Yayambyeko Okuzimba E Kisitula Mu Lwabenge.

Abamu Ku Bakristu Abeetabye Mu Mmisa E Kisitula.

Ndawula ategeezeza nti Ssempijja azimbye ekitundu ekisinga obunene ku nnyumba y'Omukama eno n'agamba nti kiba kya bwa Katonda nnyo okumusiima nga mulamu olw'obuweereza obulungi bw'abatuusizaako.

Ssempijja abadde omusanyufu agambye nti Abakristu kye bakoze kimuwadde essuubi nti wakyaliyo abasiima emirimu emirungi wabula n'asaba abalala abalina obusobozi nti nabo baveeyo bongere okudduukirira omulimu guno kubanga tegunnagwa bulungi.

 

 

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...