TOP
  • Home
  • News
  • 'Mutoole ku kye mulina muddize Mukama'

'Mutoole ku kye mulina muddize Mukama'

Added 18th April 2021

Omusumba Ssekiziyivu mu kusaba olwaleero.

Omusumba Ssekiziyivu mu kusaba olwaleero.

OMUSUMBA w'Obusumba bw'e Bbira David Ssekiziyivu akuutidde Abakristaayo okuvaayo okuwaayo ssente ez'okumaliriza ekkanisa yaabwe n'agamba nti kiba kirungi abantu okutoola kw'ekyo Katonda ky'abawa ne bamuddiza naye ayongere okubawa.

Bino abyogeredde mu kusaba ku Kkanisa ya St. Mathew Bbira esangibwa ku lw'e Mityana. Okusaba kuno kubaddemu n'okwebaza Katonda kubanga yabasobozesa okuyita mu kiseera ekizibu eky'ekirwadde ky'a Covid 19 ate ne basobola okwongera okugenda mu maaso n'omulimu ogw'okuzimba ekkanisa.

Abakristaayo N'omubuulizi Nga Bali Wabweru W'ekkanisa Ezimbibwa.

Akuutidde Abakristaayo bulijjo okujjukiranga okwebaza Katonda olw'ebirungi byabakoledde kuba waliwo bangi abatannabifuna ate n'abamu bafudde era abakuutidde okukomya okweraguzalaguza n'okutwala sente mu masabo wabula bakozese obudde bwe balina okusaba Katonda ebyetaago byabwe .

Ategeezezza nti  balina obwetaavu bwa ssente obukadde  17, okuteekamu 'talazo' mu kkanisa wabula nga mu kiseera kino ezeetaagibwa mu bwangu bwe bukadde musanvu.

Ayongedde n'ategeeza  ng'Omulabirizi w'e Namirembe Rt. Rev.  Kityo Luwalira naye bw'asiimye omulimu gwe baakakolako mu kuzimba wamu  n'eyali omulabirizi w'e Mityana Rt. Rev. George Ssenabulya bwe babadde bakyaddeko mu kkanisa eno wabula n'abaabakubiriza okwongera okuwaayo.

Oluvannyuma Abakristaayo bakungaanidde ku katuuti ne basabira ekkanisa, ng'okusaba kuno kwakulembeddwaamu Ethel Ssekiziyivu mukyala w'Omusumba w'e Bbira David Ssekiziyivu.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...