TOP
  • Home
  • News
  • 'Munsonyiwe okubba naye mu saluuni temukyali ssente'

'Munsonyiwe okubba naye mu saluuni temukyali ssente'

Added 18th April 2021

Wakabi abatuuze gwe baakubye nga bamulumiriza okumenya ebbaala n'abba.

Wakabi abatuuze gwe baakubye nga bamulumiriza okumenya ebbaala n'abba.

KINYOZI bamukwatidde mu bubbi n'asaba bamusonyiwe kubanga  mu saluuni 
temuli ssente zimumala kweyimirizaawo.

Sowedi Wakabi 22, kinyozi  nga mutuuze mu Dobbi Zooni mw'alina saluuni esala enviiri, poliisi yagenze okumuggya ku batuuze nga bamukubye nga bamulumirizza okumenya ebbaala ya munnaabwe Kawonya n'abbamu ebintu eby'enjawulo okwabaadde omwenge n'essimu.

Wakabi yakkirizza nti kituufu yamenye ebbaala ekiro ssaawa 10:00 n'abbamu
essimu n'omwenge nga kino yakikoze lwakuba mu saluuni temukyavaamu
ssente zisoboola kumuyimirizaawo.

Yakiikidde ensingo abaamukubye n'agamba nti omuntu bw'aba  bamukwatidde mu bumenyi bw'amateeka tebalina kumukuba wabula bamutwala ku poliisi .

John Kawooya  yagambye nti okukwata Wakabi  baamaze kumulaba n'essimu ng'abatuuze we baamutaayirizza naye n'abaddukako n'agenda mu Lusanja ewa nnyina ng'eno gye baamuggye.

Kawooya yagasseeko nti yabbye kuleeti ya biiya , ekiddomoola kya walagi  n'essimu era yagguddwaako omusango ku Fayiro nnamba SD REF:SD REF:02/14/04/2012.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...