TOP
  • Home
  • News
  • ▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkiro ku Kabaka

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkiro ku Kabaka

Added 18th April 2021

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera ya Kabaka.

Abamu ne bagamba nti okunnyonnyola kwa Katikkiro kwongedde bibuuzo.
Kyokka waliwo n'abagamba nti abalumba Katikkiro basooke beeteeke mu ngatto ze
oba ekifo kye bafumiitirize kye bandikoze. Osanga bwe banditegedde obukulu bwa
Kabaka n'okuba nga tomala googera ku bulwadde bwa muntu ne bw'aba owaabulijjo,
bandibadde tebalumba Katikkiro.

Ku Lwokutaano, Katikkiro yasinzidde ku Bulange n'agamba:
Nga April 13 twajaguzza amazaalibwa ga Ssabasajja Kabaka ag'e 66. Abaabadde
ku mukolo mu Lubiri e Mmengo n'abaagigoberedde ku ttivvi baalabye nga waliwo ekikyuseeko ku ntunula ya Ssaabasajja eya bulijjo.

Ng'omuntu omulala yenna, waliwo ebiseera lwe tufuna obukosefu mu bulamu
bwaffe. Ssaabasajja abadde atawaanyizibwa ‘allergy' (soma alajje). Ekizibu kya
allergy oluusi kiva ku mmere gye tulya; empumbu eva ku bimuli, enfuufu n'ebintu
ebirala. Obuzibu bwa allergy oluusi bumukaluubiriza mu kussa naddala ng'ayambadde masiki.

N'engambo zonna ezibungeesebwa ku mitimbagano teziirimu kanigguusa era tubasaba obutazigenderako kubanga bwe muzigenderako so nga teziriiko mutwe na magulu, zijja kubamalako emirembe. Ebyo byonna ebyogerwa nti Kabaka baamuwa obutwa si bituufu
nákatono.

Bwe tubeera abakosefu tufuna obujjanjabi, era ne ku Kabaka bwe kiri. Tulina abasawo abakugu abamukolako era twesiga nti embeera ya nnyinnimu bajja kugitereeza.

Njagala okugumya Obuganda nti embeera ya Ssabasajja ekwatiddwa mu ngeri ya kikugu, era tusuubira era nga bwe tusaba, omutanda avvuunuke embeera eno mu bbanga ery'okumpi.

EBYA MMENGO TEBIMATIZA KU NSONGA

                              Joyce Ssebuggwawo

Tekyansanyusizza

Meeya w'e Lubaga era eyali minisita w'e Mmengo, JOYCE BABBOSA SSEBUGWAWO: Kabaka tulina essuubi nti ajja kuba bulungi. Alabika bwatyo naye akola bulungi emirimu gye. Kuva dda nga mulwadde wa asima. Yabadde nsobi okumuleeta ku mukolo ng'enkuba etonnya ate nga tannawona bakyamujjanjaba. Naffe bwe twamulabye ng'azze ku mazaalibwa tekyatusanyusizza era ndowooza Katikkiro yakozeemu ensobi n'abaabadde mu nteekateeka z'omukolo.

                                            Dan Muliika

Yeetaaga ddwaaliro

Katikkiro eyawummula Dan Muliika: Embeera gye nnalabye yeetaaga ddwaaliro
kuba esukka ku ‘allergy'. Omuntu bw'abeera afunye ‘allergy' ne bw'ebeera embeera
y'obudde eyinza okubeera ng'emukosa ne yeetakula naye kino kisukkawo.

Kati simanyi ani ayogera kituufu kubanga Katikkiro yatugamba nti ali bulungi era gy'ali alamula. Amawulire ne gatugamba nti mulwadde era yagenze okuvaayo ng'ebeera erabika. Abambejja ne bavaayo ne bategeeza nti abadde mulwadde okumala ekiseera era
ajjanjabibwa.

Ndowooza nti kati omusawo ye yandibadde atunnyonnyola ku bulwadde ne kiki ekimuluma. So si Katikkiro abadde atugumya nti Kabaka mulamu, alamula.
Wabula nange sibadde na luwenda lumutuukako era soogera ng'alina obuyinza ku nsonga eyo kubanga Katikkiro y'alina okutubuulira.

                                       Ken Lukyamuzi

Bamuwe obujjanjabi

John Ken Lukyamuzi akulira CP era eyali omubaka wa Lubaga South mu palamenti:
Teri muntu atalwala. Naye engeri Katikkiro n'abamuli ku lusegere gye bakuttemu
ensonga ya Kabaka ndaba nga si nnungi. Ffe abamanyi Omutanda tetuwulirangako nti alina obulwadde bwa asima oba allergy. Katikkiro n'olukiiko lwa Buganda bakolere wamu Kabaka afune obujjanjabi obugwanidde.

Temutukema

Mubiru njuki, Omuwandiisi wólukiiko lwÁbazzukulu: Katikkiro ebikwata ku mbeera ya Ssabasajja Kabaka abitaddemu nnyo amalala. Mayiga aleme kutukema oba okutusosonkereza.

Okuvuma abantu n'okujereegerera tekijja kugonjoola kizibu obulamu bwa Ssaabasajja
mwe buli. Tusaba Katikkiro ne Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka okubuulira Buganda enteekateeka ze bakoze okusobozesa Baffe okutwalibwa mu basawo abakugu
okusinga ku bamukolako kati.

Ekirala Katikkiro aleme kutuyisaamu maaso. Emikutu gya social media gy'avuma gyatugamba nti Kabaka mulwadde. Katikkiro yakiwakanya nti Kabaka mulamu tteke
era alamula. Yali agenze Kenya ku mirimu emitongole.

Kabaka bw'ataalabika ku fayinolo y'amasaza e Kitende era Katikkiro n'atugamba nti aguddeko olugendo olw'amangu olumututte e Kenya era mulamu bulungi.

Kabaka yalabise ku mazaalibwage nga si mulamu bulungi nga Katikkiro bw'azze atugamba. Kati Katikkiro yómu agamba nti Kabaka mulwadde allergy! Yategedde ddi
nga Beene mulwadde?

                                  Omutaka Namwama

          

Ebibuuzo bibadde bisusse

OmutakaNamwama Augustine Mutumba ,Omukubiriza w'Olukiiko lw'Abataka
Katikkiro ky'ayogedde kibadde kisuubirwa kubanga bulijjo wabaddewo ebibuuzo bingi
ebirina okuddibwamu.

Tujja kwongera okumanya biki ebibeera bigenda mu maaso kubanga tekikomye kaakati. Gwe mulimu Ssaabasajja gwe yateerawo Abataka okutuukiriza. Bulijjo bwe
wabeera tewali alipoota eweebwa tufuna abantu abajjuzzaawo ebyabwe ate ng'oluusi biteekawo obweraliikirivu mu bwangu.

Bino olwaguddewo, twasabye okugenda okusisinkana n'okubuuza ku Kabaka waffe olwo twongere okufuna obukakafu bwenyinni n'okudda okubuulira abazzukkulu. N'olwekyo abazzukkulu nsaba okubagumya ekiseera kino nti tulindiridde w'anaasiimira
tugende tumulabeko.

Ng'Abataka tugenda mu maaso n'okusabira Kabaka era abazzukkulu mbasaba bwe
babeera boogera bikwata ku Kabaka, bakikole mu ngeri etatuwebuula nga bagoberera ensonga zaffe ez'obuwangwa.

Temuvuma Katikkiro

Caleb Gyaviira: Mwe abavuma Katikkiro mumanyi Kabaka embeera gy'abaddemu emyezi ebiri egiyise? Katikkiro abagambye nti Kabaka ajja kuba bulungi mukkirize, tasobola kwogera mwe bye mwagala kubanga ensonga z'Obwakabaka tezisobola kulaalasibwa bwe zityo, biba byama bya Bwakabaka ekituufu kiri nti embeera ya Kabaka egenda etereera, mumusabire

      Haji Mutumba

Tebandimuleese mu mbeera eyo

Hajji Nsereko Mutumba eyali omwogezi wa Uganda Muslim Supreme Council:
Ndudde mu ofiisi z'abakulu. Nnali siyinza kukkiriza Mufti kugenda mu bantu nga tali
mu mbeera nnungi. Nneewuunyizza lwaki baaleese Beene ng'ali mu mbeera embi bwetyo.

Kyabadde kibi okumutambuza mu mbeera gy'alimu. Kirungi okwogera amazima abantu ne bamanya. Siraba lwaki Katikkiro ne banne babadde bakwekerera eby'obulamu bwa Kabaka.

Pulezidenti Museveni bwe yalwala nájja ngálina bandeegi ku lugalo yannyonnyola ekyali kimutuuseeko kubanga ebibuuzo byali bingi mu bantu. Abakwatibwako ku nsonga ya Kabaka abaludde nga bakwekakweka ebimukwatako basaana
beetondere Obuganda amangu ddala.

Sarah Nambwayo: Katikkiro awakanyizza ebya Kabaka okumuwa obutwa.
Bulijjo tumumanyi nga looya omutendeke, ate omulimu gw'ábasawo okumanya gwe bawadde obutwa yaguyize ddi? Ebintu bibe birambulukufu.

                                          Al Haji Abdul Nadduli

Bakwatagane ne pulezidenti

Eyali Minisita HAJJI ABDUL NADDULI:
Mbadde nnyo wakati w'enkolagana ya Kabaka ne Pulezidenti Museveni era ababiri
bano bavudde wala nga bakyali e Bulaaya ne mu ddwaaniro.

Kabaka yakola ssaddaaka bwe yawagira Abaganda okwenyigira mu lutalo olwaleeta gavumenti eriko naye kyewuunyisa okulaba nga Katikkiro abadde okulwala kwa Kabaka akutwala ng'ekyokusaagirira.

Waliwo abanene mu ggwanga lino abayi abatwaliddwa wabweru naye twebuuza lwaki Mayiga takwatagana na Pulezidenti ne bakwasaganya ensonga eno?

Mayiga yeekaza bwekaza okuvaayo ng'alaga embeera Kabaka gy'alimu kubanga atidde
nti Abaganda bayinza okumuyisa obubi ng'agenze mu byalo okubagamba ebya Buganda ku ntikko ate nga Kabaka waabwe mulwadde.

Olaba Kafeero Mutaasa, ne Loodi Meeya bwe baalwala, nga buli omu ayagala okumanya ebibafaako. Lwaki ate Kabaka akulembera abantu abali mu bukadde n'obukadde ebimukwatako bikukusibwa bukukusibwa?

Omutaka omulala; Ebyawandiikibwa bigamba buli lw'omanya nti tomanyi obeera
omanyi. Mu kumanya nti tomanyi ogenda ne weebuuza ate ensonga n'ogikola bulungi. Bw'olaga ennyo nti omanyi ate olwo obeera tomanyi. Abé Mmengo bye bakola
oluusi biraga nga tebamanyi.

N'ozimba akeedi ne ziggwa ate n'ólemwa okuyonda emmuli? Lwaki abé Mmengo tebeebuuza ku bamanyi okusiba emmuli? Kabaka temujja kumuzannyirako
nga bwe muzannyidde mu nsonga z'Amasiro.

Twongere okumusabira

Fred Wotonava, meeya wa Mityana Central divizoni:
Mukama atuyambe Ssaabasajja awone. Tetumanyi oba nga baamutwalako ebweru okufuna obujjanjabi obusingawo. Okunnyonnyola okuweebwa kulabika ng'okutamatiza kuba tetwagala kulaba Kabaka waffe ng'aliko obukosefu bwonna.

Edward Ndawula Ssembatya (Katikamu South): Embeera Kabaka gyalimu ffenna etweraliikiriza. Kye tulina okukola kwongera kumusabira. Abamuli okumpi kye
mbasaba bamutwale Bungereza, Germany oba Buyndi. Eby'e Nairobi kirabika bigaanyi.
Tuve mu mbeera y'okwekangabiriza n'okubikkirira.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...