TOP
  • Home
  • News
  • Pulezidenti waakusooka kusisinkana ababaka ba NRM abalonde aba Buganda

Pulezidenti waakusooka kusisinkana ababaka ba NRM abalonde aba Buganda

Added 18th April 2021

Dombo ng'annyonnyola.

Dombo ng'annyonnyola.

Omukulembeze w'eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni asazeewo okutandika okusisinkana ababaka ba NRM abapya abaakalondebwa okusinziira mu bitundu mwe bava nga waakusooka kusisinkana abo abava mu Buganda .

Bino bikakasidwa avunaanyizibwa ku by'amawulire mu kibiina kya NRM , Emmanuel Dombo ng' asinziira e Kyankwanzi, ababaka bano gyebanaatera okukulungula wiiki bbiri mu lusirika nga basomesebwa ebintu eby'enjawulo okusingira ddala okwagala ekibiina kya NRM n'okwongera okukyagazisa abantu  n'engeri y'okuyambamu Bannayuganda okuvvuunuka obwavu.

Dombo annyonnyodde nti pulezidenti okusalawo okusisinkana ababaka bano okusinziira mu bitundu mwebava kigenda kuyamba kinene ababaka okumubuulira ebizibu ebiruma ebitundu bino n'engeri y'okubinogeramu eddagala .

Wiiki ssatu wezinaagwerako ababaka bano ze balina okumala e Kyankwanzi mu lusirika kisuubirwa nti bajja kuba beetegese bulungi okulayira era nga  bafunye obukugu mu kuteeseza ebitundu byabwe gye bava mu palamenti.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...