TOP
  • Home
  • News
  • Ssegirinya bamututte Nairobi

Ssegirinya bamututte Nairobi

Added 19th April 2021

Ssegirinya nga bamutwala mu kagaali.

Ssegirinya nga bamutwala mu kagaali.

OMUBAKA wa Kawempe North omulonde, Mohammed Ssegirinya eggulo ku Ssande baamutadde ku ennyonyi eyamututte e Nairobi mu Kenya abasawo okwongera
okumwekebejja.

Ssegirinya baamugye mu ddwaaliro e Seguku ku lw'e Ntebe ne bamutuusa ku kisaawe e Ntebe ku ssaawa 11.00 ezolweggulo ne bamuvuga mu kagaali okumuyingiza
ennyonyi.

Mwannyina wa Ssegirinya eyeeyise Nagirinya Ssanyu yategeezezza Bukedde eggulo nga bali ku kisaawe e Ntebe nti okugenda e Nairobi, abasawo ababadde bamukolako
baamaze kulemererwa mbeera ye.

Ssanyu agamba nti ku Lwomukaaga, embeera ya Ssegirinya yatabuse ng'afuluma musaayi ate ng'addugadde okusinga bw'abadde bulijjo, abasawo e Sseguku gye babadde bamujanjabira ne babawa amagezi okumwongerayo.

"Tuli ku kisaawe baakamala okutukebera COVID-19 olwo tusimbule essaawa 11.00
ez'olweggulo."

Ssegirinya yayimbuddwa ku kakalu ka kkooti ka bukadde busatu za buliwo okuva mu
kkomera e Kitalya gye yasibirwa olw'okukuma omuliro mu bantu okwekalakaasa nga basaba okuyimbula abantu abakwatibwa.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...