TOP
  • Home
  • News
  • Aba Salam Charity badduukiridde eddwaaliro ly'e Kawempe n'obukadde 10

Aba Salam Charity badduukiridde eddwaaliro ly'e Kawempe n'obukadde 10

Added 22nd April 2021

Aba Salaam Charity nga bakwasa Sheikh Said Kasawuli  ceeke ya bukadde 10.

Aba Salaam Charity nga bakwasa Sheikh Said Kasawuli ceeke ya bukadde 10.

Aba Salam Charity badduukiridde eddwaaliro ly'e Kawempe eppya n'obukadde 10 okugula ebyuma ebikozesebwa. 

Eddwaaliro lino erya Alfalah ligguddwaawo n'ekigendererwa eky'okutumbula ebyobulamu mu Kawempe okusinziira ku bwetaavu bwe babadde nabwo nga tebalina ddwaaliro liri kumpi mu kitundu ky'e Kawempe - Ttula mu Mbogo. 

Omukolo guno gwakulembeddwaamu akulira ba Imam mu Kampala, Sheikh Said Kasawuli ng'omugenyi omukulu yabadde Dr. Abdul Kalisa akulira ekitongole kya Salam Charity

Dr. Kalisa eyakulembeddemu okuggulawo eddwaaliro lino yatendereza omulimu omulungi  omugenzi Sheikh Nuhu Muzaata gwe yakola okulaba ng'eddwaaliro  lino lizimbibwa kyokka ng'ekyennaku tasobodde kubaawo nga balitongoza. 

Sheikh Said Kasauri yeebaziza abo bonna abasobodde okubaako kye bayamba mu kuzimba eddwaaliro lino kyokka n'agamba nti eddwaaliro lino ligenda kuwa obujjanjabi abantu bonna awatali kusosola mu ddiini. 

 

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...