TOP

Express esisinkanye URA FC

Added 22nd April 2021

Esther Namusoke (ku kkono) ne Andy Lule( ku ddyo) eyaliko ssita wa Express abaalonze akalulu

Esther Namusoke (ku kkono) ne Andy Lule( ku ddyo) eyaliko ssita wa Express abaalonze akalulu

Express Vs URA FC- Betway Mutesa II Wankukukuku 

UPDF Vs Vipers - Bombo Military Stadium 

Proline Vs Mbale Heroes - MTN Omondi Stadium, Lugogo 

Onduparaka Vs SC Villa - AbaBet Green Light Stadium, Arua 

Wakiso Giants Vs Tooro United - Kabaka Kyabbagu Stadium, Wakiso 

Police Vs Solitlo Bright Stars - MTN Omondi Stadium, Lugogo 

OBULULU bw'omutendera gwa ttiimu 16 ezikyali mu mpaka za ‘Stanbic Uganda Cup' buwadde Express FC embavu n'essuubi ly'okuyitawo bwe bugisudde ku URA gye yafutizza awaka ne ku bugenyi mu liigi ya babinywera sizoni eno. 

Omutendera guno ogw'okukyaliragana gwasengekeddwa ku Lwokuna ku kitebe ky'omupiira mu ggwanga ekya ‘FUFA' e Mengo wabula omupiira ogusinze okutunuulirwa gwe guli wakati wa URA abali ku ffoomu sizoni eno ne Express abalabika nga bakyavuya. 

Ekiwa Express enkizo nga newankubadde balabika nti bavuya mu mipiira esatu egisembyeyo egya liigi mwe baakoledde amaliri ga mirundi ebiri n'okukubwa Soltilo Bright Stars(2-1), basobodde okuggya obubonero 6 ku URA FC sizoni eno bwe baabakubira ku bugenyi (1-0) n'e Wakulukuku (3-1). 

Ekiyinza okweyimirira URA FC ye ffoomu ennungi kweri, mu mipiira esatu egisembyeyo mu liigi ewanguddeko ebiri n'amaliri ga mulundi gumu. 

Decolas Kiiza amyuka akulira emirimu mu FUFA,yayozaayozezza ttiimu 16 ezisobodde okutuuka ku mutendera guno n'azeebaza okugoberera obulungi  amateeka ga Covid 19 ate n'abakutira okukuuma empisa nga bagenda okuzannya omutendera ogubatuusa ku ttiimu omunaana (8). 

Empaka zino zaakuzannyibwa ku mutendera ogw'okukyaliragana wakati wa May 1-6,2021. 

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...