TOP
  • Home
  • News
  • Ng'okola ne ffamire mu bizinensi na bino bisseeko omwoyo

Ng'okola ne ffamire mu bizinensi na bino bisseeko omwoyo

Added 22nd April 2021

BMK ng'annyonnyola.

BMK ng'annyonnyola.

Ng'okola ne ffamire mu bizinensi na bino bisseeko omwoyo.

Okuwa omusolo tteeka: Abatandisi ba bizinensi batya nnyo okuwa omusolo naye ng'okuwa omusolo kitundu kikulu ku ntambuza ya bi­zinensi. Gavumenti yeetaaga emisolo kuba kwe kutambu­lizibwa eggwanga. Ssente eziva mu misolo ze ziyamba okutuusa empeereza ku bantu.

Olw'okuba bizinensi yeetooloolera ku bantu anti be baguzi, be bakozesa, era bannannyini kitegeeza nti buli kikolebwa okusitula omutindo gw'empeereza z'abantu kiyamba butereevu bizinensi yo oku­tojjera.

Ekirala emisolo kimu ku bukwakkulizo bw'okufuna ttenda ng'osuubula ku miten­dera gya waggulu eri gavumenti oluusi n'ebitongole era atagiwa ne bw'oba n'ebyetaagisa bitya wano toyitawo. Atasasula misolo awangaalira mu kugobagana n'abagikwasisa ekitwala ebiseera bya bizinensi. (Tandikirawo okusaula emiso­lo, owone obulippo obuyinza okusuula bizinensi mu biseera eby'omu maaso)

Ensagi zino tekinologiya yafuuka kitundu kikulu mu ntambuza ya bizinensi era kati okuvuganya kwetooloolera nnyo ku tekinologiya bi­zinensi gw'ekozesa. Olw'okuba tekinologiya akolera wamu n'abantu kikulu nnyo oku­muteeka ku mwanjo mu nteeka­teeka za bizinensi. (Oteekwa buteekwa okwekwa­ta tekinologiya aliwo bizinensi yo esobole okutambula n'omulembe

Ensi bwe yafuuka ekyalo ekimu kati wonna w'oli olina okumanya ebifa kw'abo bwe mukola emirimu egimu kikwanguyire okusigala ku mulamwa. Entambuza y'ensimbi, abantu, ebyamaguzi n'obutale byonna biri ku mitimbagano era bitamulira wamu n'abantu.

Dr. Hajj Bulaimu Muwanga Kibirige (BMK) akugamba nti ebyo byona bikole naye bw'omala okubikola beera musaasizi, yamba abalina ob­wetaavu obasitule kuba toso­bola kuba muwanguzi ku lulwo wekka. 

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...