TOP
  • Home
  • News
  • Ssente z'Emyooga zitabudde abasuubuzi b'omu katale

Ssente z'Emyooga zitabudde abasuubuzi b'omu katale

Added 25th April 2021

Ono ng'ayomba olw'obutafuna ssente zino.

Ono ng'ayomba olw'obutafuna ssente zino.

Ssente z'Emyooga zitabudde abasuubuzi mu katale ka Kitebi Mutundwe Market Venders, ng'abamu balumiriza abakulembeze baabwe okubasosola ne batafuna ssente zino ate abalala bbo ne bazifuna kyokka nga bonna bakolera mu katale ke kamu.

Okwerangira kiddiridde akulira okugaba ssente z'emyooga mu munisipaali  y'e Lubaga Richard Happy,  okutuuza olukiiko lw'abasuubuzi mu katale kano,  okubasomesa engeri gye bagenda okukozesa ssente z'Emyooga ezaabaweeereddwa.

Abasuubuzi bagamba nti, beekolamu ebibiina eby'enjawulo bina okuli; eky'abatunda ebibala,  abatunda eby'okunywa ssaako ne ky'abasuubuzi kyokka ebibinja bisatu byo byafunye ssente ate bbo abatunda amatooke ne batafuna nga kati baagala okunnyonnyolwa okutuufu.

Richard Happy Akulira Emyooga Mu Lubaga Ng'ayogera Mu Lukiiko Lw'abasuubuzi Bano.

Abasuubuzi Nga Bawuliriza Happy Ng'ayogera Mu Lukiiko

Abasuubuzi b'amatooke bakalambidde nga bagamba nti, waliwo embeera ey'obusosoze eyakolebwa nga baagala gavumenti ne be kikwatako, baveeyo bakole obwenkanya nabo bafune ssente beekulaakulanye, baleme kusigalira nga bannaabwe abali mu katale ke kamu bbo bagenda maaso.

Bbo abaafunye ssente basagambiza, bagambye nti,  ssente  baakuzikoseza n'obwegendereza beekulaakulanye.

Richard Happy, akulira Emyooga e Lubaga agumizza ab'amatooke nti, ensonga yaabwe  baakujikolako amangu ddala n'abasaba babeere bakkakkamu.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...