TOP
  • Home
  • News
  • 'Temukotoggera baana bammwe abaagala kusoma Obusaseroddooti'

'Temukotoggera baana bammwe abaagala kusoma Obusaseroddooti'

Added 26th April 2021

Omusumba Serverus Jjumba.

Omusumba Serverus Jjumba.

OMUSUMBA W'E MASAKA Serverus Jjumba asabye abazadde obutakotoggera baana baabwe abaagala kusomerera Busaseroddooti kuba Katonda y'abeera abayise bamuweererezeeko mu kisibo kye.

Omusumba akalaatidde abafumbo okunyweza n'okulambika amaka gaabwe kubanga gwe musingi Eklezia kw'etudde nga bwe gayuugayuuga nayo kiginnafuya.

 Alangiridde bw'agenda okuwa Abaseminario 22 emiruka ku Lwomukaaga nga May 1 2021. N'asaba Abakristu bongere  okukwatizaako Eklezia mu kulabirira Abaseminariyo basobole okutuukiriza olugendo lw'okuyitibwa kwabwe.

Bp. Jjumba asinzidde mu Mmisa gy'ayimbye mu Lutikko e Kitovu n'abakubiriza okukuliza abaana mu mpisa n'okubaazuulamu ebitone babikuze bisobole okubayamba mu bulamu  bwabwe obw'omu maaso.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...