TOP
  • Home
  • News
  • "Mwongere ku nsimbi z'okulwanyisa omusujja'

"Mwongere ku nsimbi z'okulwanyisa omusujja'

Added 26th April 2021

Richard Nelson ng'ali n'abavuzi b'eggaali.

Richard Nelson ng'ali n'abavuzi b'eggaali.

OMUKUNGU wa Amerika, Richard Nelson asabye gavumenti ya Uganda okwongera ku mutemwa gw'ensimbi z'eteeka mu nteekateeka y'okulwanyisa omusujja gw'ensiri kubanga abantu okufa obulwadde buno kisaana kikome mu kyasa kino.

Okuva enteekateeka ya United States President's Malaria Initiative (PMI) lwe yatandika mu Uganda emyaka 15 egiyise, omuwendo gw'abaana abafa nga baakazaalibwa gusse okutuuka ku bitundu 53 ku 100. Mu engeri yeemu n'omuwendo gw'abaana abafa omusujja gw'ensiri abali wansi w'emyaka etaano gukendedde ebitundu 75 ku 100.

Bino Nelson yabifulumizza mu kukuza olunaku lw'omusujja gw'ensiri mu nsi yonna n'ategeeza nti obuyambi Amerika bw'ewa Uganda ebuyisa mu kitongole kyayo kya USAID.

Ekitongole kya USAID obuyambi buno kibuwa Uganda nga kiyita mu kitongole ekirwanyisa endwadde ekya U.S. Centers for Disease Control and Prevention (CDC) nga bakolagana ne minisitule y'ebyobulamu mu Uganda.

Nelson yagambye nti ezimu ku nteekateeka z'okulwanyisa omusujja mulimu okufuuyira era kino ku mutendera ogusooka bakikoze mu disitulikiti okuli: Bugiri, Namutumba, Kibuku, Butaleja, Pallisa, Butebo, Budaka, ne Tororo mu kitundu kya Busoga, Bugwere, ne Bukedi.

Omutendera ogwokubiri ogutandise olwaleero (April 26) mu disitulikiti okuli; Amolatar, Dokolo, Lira, Kaberamaido, Kalaki, ne Serere mu bitundu bya Teso ne Lango.

 

 

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...