TOP
  • Home
  • News
  • Avumiridde abajjumbira ebintu ebitagasa

Avumiridde abajjumbira ebintu ebitagasa

Added 26th April 2021

Dayirekita wa Caritas e Kasana Fr. Muheesa ng'alambuza abalimi ebirimibwa ku ttendekero lya Klezia e Mulingiomu mu Nakaseke.

Dayirekita wa Caritas e Kasana Fr. Muheesa ng'alambuza abalimi ebirimibwa ku ttendekero lya Klezia e Mulingiomu mu Nakaseke.

DAYIREKITA w'ekitongole kya Klezia eky'ebyenkulaakulana mu ssaza lya Kasana - Luweero Fr. Hirally Muheesa avumiridde omuze gw'abantu ogw'obutaagala kukungaanira wamu kusala ntotto ku bibatwala mu maaso ne bajjumbira ebitabagasa nnyo omuli okukwata amayembe, ebyobufuzi, okunywa omwenge n'ebirala.

Yasinzidde ku kitebe ky'essaza e Kasana mu musomo ogukwata ku kutumbula eby'endiisa  ogwetabiddwaamu abakulembeze abaavudde mu magombolola ag'enjawulo n'asaba abantu okumalira ebiseera mu kukola n'emisomo egibatwala mu maaso.

Omusomo gwategekeddwa aba Caritas nga bali wamu ne Harvest Plus ogwagendereddwaamu okutumbula eby'endiisa nga bakunga abantu okulima emmere emala ate erimu ebiriisa esobola okuzimba emibiri gy'abantu naddala abaana abali wansi w'emyaka 5 n'abakyala abayonsa baleme kulumbibwa ndwadde.

Mu kaweefube ono baakukolagana n'abakugu mu kumerusa amalagala ga lumonde owa kipapaali n'ebijjanjaalo ebirimu Vitamin A  babigabire
amasomero, amalwaliro  n'embuga z'amagombolola abantu gye bajja okubigya balime.

Omumyuka wa ssentebe wa disitulikiti ya Luweero, Joseph Sserugo yasiimye aba Caritas olwa kaweefube ono n'asuubiza okubawagira.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...