TOP
  • Home
  • News
  • 'Tugenda kukozesa poliisi okugumbulula abeerimbika mu kufuna paasipooti '

'Tugenda kukozesa poliisi okugumbulula abeerimbika mu kufuna paasipooti '

Added 26th April 2021

Mutambi ng'ayogera.

Mutambi ng'ayogera.

MINISTULE y'ensonga z'omunda mu ggwanga etegeezezza nga bw'egenda okutandika okukozesa eryanyi nga yeeyambisa poliisi okugumbulula abantu abayitiridde okukungaana mu bungi ku offiisi z'ekitebe kino nga beerimbise mw'abo ababeera bazze okufuna paasipooti .

Dr. Benon Mutambi, omuwandiisi  ow'enkalakkalira mu ministule eno ategeezezza bannamawulire olwaleero nga bwe basanze okusoomoozebwa olw'amakampuni agatwala abantu ebweru agaleeta ne gayiwa awo abantu okufuna paasipooti mu nnaku ezitali zaabwe.  Asabye abantu okujja ku kitebe kino ku nnaku ze baba bayitiddwaako ,era anaalemwa okukigoberera ajja kukwatibwa atwalibwe ku poliisi .

Yategeezezza nti  gavumenti erina enteekateeka ey'okufunayo ekifo ekirala mu bbanga eritali lya wala  abantu we bajja okunonanga paasipooti kiyambeko okukendeeza ku mujjuzo ku ministule wamu n'okuyambako abantu obutaferebwa olw'abo abakozesa omukisa ng'abantu bakungaanye mu bungi ne batandika okubafera .

Dr. Mutambi era ategeezezza ng' omuwendo gw'abantu abagenda ebweru w'eggwanga okukola  bwegweyongedde nga kino akigeraageranyirizza ku bungi bwa paasipoti kati ezigabibwa okuva ku paasipoti  14,166 mu December 2020 okutuuka ku paasipooti 18,894 ezaakagabibwa omwezi guno .

Ajjukisa Bannayuganda okugenda bunnambiro okukyusa paasipooti zaabwe kuba paasipooti enkola enkadde zonna zigenda kukoma okuddizibwa obuggya nga  April 4, 2022 era tebasuubira kwongezaayo.

 

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...