TOP

Abakazi ababeekwanira mubataase!

Added 14th May 2013

ABAKAZI abo be mulaba nabo bamanyi okwekwanira abalenzi. Naye olulimi lutera okubazitoowerera era kye bakola kwe kubeekulubeesezaako nga buli kiseera babeera baagala okubeera nammwe.



ABAKAZI abo be mulaba nabo bamanyi okwekwanira abalenzi. Naye olulimi lutera okubazitoowerera era kye bakola kwe kubeekulubeesezaako nga buli kiseera babeera baagala okubeera nammwe.

Abalala babatoneratonera obulabo kyokka nga nabo tebuliimu ng’obutambaala. Batera n’okugunjaawo ebizibu nga mwe mulina okubimaliriza era nga baagala okubayingiza mu bulamu bwabwe obwa bulijjo mugezeeko okuzuukuka mubeeko kye mugamba. Ate bwe balemerako balinga nkwa ku nte era tebapowa okutuusa nga bafunye kye baagala.

Bw’obeera omuwuulu ng’olina w’osula batandika okukyalira. Era bwe batuuka awaka, tebeeyisa nga bagenyi. Batandika okufumba, okukwoleza engoye n’okuzigolola. Bamanyi n’okwewaayiriza nga bali mu mboozi ne bannaabwe nga bwe bakumanyi ennyo. N’olwekyo muyige olulimi lw’abakazi ab’ekika kino. Bwe muba musobodde mulwanukule n’ebikolwa.

Abakazi ababeekwanira mubataase!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?