TOP

LEERO MU BYAFAAYO: October 27, 1961

Added 29th November 2011

Mu kuteeseganya okwali e Bungereza nga kwetabiddwaamu abakungu okuva mu gavumenti ya Uganda,

Mu kuteeseganya okwali e Bungereza nga kwetabiddwaamu abakungu okuva mu gavumenti ya Uganda, 

Buganda n’aba gavumenti enkuumi, kyasaalibwawo nti uganda esaanidde okufuna entegeka empya mu byobufuzi nga muno Buganda yalina okwegatta ku bintu ebirala ebya Uganda mu ngeri ya Federo, era enteekateeka eno yatuumibwa endfagaano ya ‘Buganda eya 1961’

Mu mbeera eno, kyasalibwawo okuteekawo gavumenti eya wakati emanyiddwa nga ‘Gavumenti ya Uganda’ era wabeewo olukiiko olutuulako bamemba 82 nga bano bakubwako kalulu. 

Walina okubaawo enkolagana ennungi wakati wa gavumenti ya Uganda n’ebitundu ebirala okuli ne Buganda.

Enteekateeka eno yali mu ndagaano ya 1961, eyamenyawo endagaano zonna okuva ku 1894-1955, kyokka nga tejjawo bwannannyini ku ttaka lya mayiro. 

Ebirala ebyakaanyizibwako kwe kuba nga Kabaka ayitibwa ‘His Highness’ era nga ku mikolo alina okukubibwa emizinga 15.

Kyakkaanyizibwako nti singa gavumenti y’amatwale erigenda, walibaawo okuteeseganya okulibaamu n’ababaka ba Buganda.        

Bino obadde okimanyi?

Uganda yafuna obwetwaze nga October, 1962 oluvannyuma lw’emyaka 70 ng’efugibwa Abangereza.   

LEERO MU BYAFAAYO: October 27, 1961

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.