TOP

KALOOLI: Omuserikale akuuma obuyonjo mu Kampala

Added 25th May 2012

KALOOLI, ebinyonyi ebikung’aanira mu bitundu bya Kampala ebitali bimu naddala okuliraana ebifo omusuulwa kasasiro n’ewabeera ebyokulya nga Lufula biyinza okuba nga byakutama olw’enfanaana yaabyo

Bya ANGEL LUBOWA

KALOOLI, ebinyonyi ebikung’aanira mu bitundu bya Kampala ebitali bimu naddala okuliraana ebifo omusuulwa kasasiro n’ewabeera ebyokulya nga Lufula biyinza okuba nga byakutama olw’enfanaana yaabyo n’okumala gasuula kalimbwe naye mwattu gye mikwano gyo egisinga egikuyambye okukuumira Kampala ng’akyalimu akamoozoola!

Ggwe gy’ocafuwaliza ekibuga ng’omala gasuula kasasiro, amagumba g’engege n’ennyama, zo Kalooli zikeera ku mulimu gwa kubiyoola nga bwe zibibwebwena era n’omala okeera enkya n’ozitta zonna oyinza okwewuunya ng’ekivundu kye zibadde zikutaaasaako okiggyeemu ndwadde.

Ky’ova olaba nga Bannakampala bangi abatamanyi mugaso gwa binyonyi bino ebyasenga mu Kampala okuva mu myaka gya 1918 obasanga bakubagana empawa ng’abasinga beevuma obucaafu bwabyo omuli okumansamansa kalimbwe ku makooti nga batambula oba nga bawummuddeko wansi w’emiti mwe zeegiriisiza n’okujamawaza amammotoka gaabwe.

Okusingako ku Kamunye oba ebinyonyi ebirala ebigwa mu ttuluba ery’ebirya ebintu ebivunduvundu oba amagumba, Kalooli ye kalonda gw’alya tamubbirira atambula kyere ka wabeerewo abantu .

KALOOLI ERYA KKIRO ZA KASASIRO
BBIRI OLUNAKU Okunoonyereza okuzze kukolebwa ebitongole ebitali bimu omuli n’eky’ebyobutonde bw’ensi ekya Nature Uganda, kizuuse nti Kalooli y’omu ku baserikale abayambye ennyo Kampala obutassa bantu kivundu ky’ebicaafu ebimala gasuulibwa okuva ku mbwa enfu okutuuka ku kasasiro amala gamansibwa.

Okumanya ssebusa wa Kalooli tawena,terina ky’eyisa kasita esobola okukisussa omumiro kibeera kiwedde kubanga kizuuliddwa nti erina asidi mu lubuto asobola okumulungula buli ky’ebeera eridde. Buli kicaafu ky’oyinza okulowoozaako, Kalooli olukikubako

emmunye emira bumizi ate olw’obutwa bw’etuulidde mu mubiri yo ne bw’ebeera efudde toligisanga nti evunze envunyu zigiridde; tevaamu kivundu wabula ekala bukazi! Okusinziira ku Dr. Archilles Byaruhanga akulira Nature Uganda, Kalooli emu esobola okulya kasasiro azitowa kkiro bbiri .

Kino kitegeeza nti Kampala abalirirwamu Kalooli 10,000 ziyamba okuyoolawo kasasiro aweza kkiro emitwalo ebiri olunaku, ze ttaani 20 ebinyonyi bino ze bitaasa ekitongole kya KCCA buli lunaku.

Oyinza okugattamu n’olaba ssente mmeka ezandibadde zisaasaanyizibwa aba KCCA buli lunaku ku ttaani 20 ng’ate nazo zivudde mu nsawo yo! Kalooli okuzaagala oba obutazaagala kizuuse nti za mugaso buli muntu ayagala obuyonjo n’obutonde bw’ensi ye okusigalawo ze yandibadde afuba okukuuma.

Jjuuzi mu January w’omwaka guno aba yunivasite e Makerere abaabuzaabuziddwa abayizi abamu abaagambye nti zibamazeeko emirembe ne baziwa obutwa ne battako 50 kaabuze kata batwalibwe mu kkomera nga babalanga okutta ‘Nampala’ w’obuyonjo era wadde baasimatuse ekkomera ebivumo bye babuuse nabyo bakyabitenda.

UGANDA Y’ESINZA KALOOLI MU AFRIKA
Mu biseera Kampala w’abeeredde omucafu ennyo ng’aba KCCA tebeefi irayo, Kalooli abadde akwatirira ng’alwanyisa obucaafu kubanga ye alya buli kantu k’asanga kasuuliddwa.

Kalooli teziri mu Kampala wokka wabula n’ebitundu by’eggwanga ebirala naddala ebibuga n’emyalo omuli Ggaba, Busaabala gattako ebifo ebirala awasalirwa ebisolo wonna mu ggwanga n’ewasuulibwa ebisaaniko ng’e Kiteezi KCCA gy’etwala kasasiro ava mu Kampala.

Ku lukalu lwa Afrika, Uganda y’esinga okubeeramu Kalooli era ekitongole ky’ebyobutonde bw’ensi kyazissa dda ku lukalala lw’ebinyonyi abalambuzi abettanira Uganda bye bateekeddwa obutasubwa kwerabirako.

Mu Kampala, Kalooli zisinga kusangibwa ku kitebe kya KCCA ekisangibwa ku City Hall; Sheraton, Serena Hotel, ekibangirizi kya konsitityusoni, mu Lufula ne ku mwalo e Munyonyo n’e Makerere ku yunivasite.

KALOOLI: Omuserikale akuuma obuyonjo mu Kampala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...