TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Margaret Zziwa: Yatandika nga kalaani, kati ali ku ddaala lya nsi yonna

Margaret Zziwa: Yatandika nga kalaani, kati ali ku ddaala lya nsi yonna

Added 8th June 2012

ABOOZA mmotoka mu katale k’ewa Kisekka, tebaryerabira Margaret Nantongo Zziwa olw’engeri gye yalekerera abagagga abaali baagala okubagula babasengule n’abalwanirira.

Bya Ahmed Kateregga

ABOOZA mmotoka mu katale k’ewa Kisekka, tebaryerabira Margaret Nantongo Zziwa olw’engeri gye yalekerera abagagga abaali baagala okubagula babasengule n’abalwanirira.

Bino byaliwo ku ntandikwa y’emyaka gy’ekyenda ng’ekibbattaka kitandiikiriza. Obutafaanana ng’abakungu ba KCC ababaddewo nga bo ku mugagga kwe bateeterera, Muky. Ziwa ng’ali wamu n’eyali Meeya Christopher Iga, eyali akulira abavubuka Mw. Batte n’eryali omubaka wa Kampala mu lwali olukiiko lw’eggwanga NRC, Capt. Francis Babu, ku bantu ba bulijjo nga kwe bateeterera.

Olwo Nantongo eyali tannafiirwa bba Zziwa amale afumbirwe Capt. Babu, yali muwandiisi ku lukiiko lwa RC lll olwa Kampala Central kwe yali okuva mu 1989 okutuuka mu 1992. Eby’obukiiko bwa RC I  yabitandikirawo nga NRM yaakajja mu buyinza mu 1986.

Muky. Zziwa ye yakulira okubala abantu n’amayumba mu Kampala mu 1991 era mu 1992 yalondebwa okuba omuwandiisi ku lukiiko lwa RC V okuva mu 1992 okutuuka mu 1996.

EKIFO ky’omubaka omukazi owa Kampala mu Paalamenti kibadde kya nkizo eri buli akituukamu, kubanga ayongera kulinnya madaala.

Mu bagalinnye mwe muli eyakisookamu, Dr.Specioza Wandira Kazibwe (1989-1996) eyakoonola obumyuka bw’obwaminisita w’eby’abakazi, abavubuka, ebyobuwangwa n’ebyemizannyo okuva mu 1991 okutuusa mu 1994, lwe yafuulibwa  omumyuka wa Pulezidenti.

Eyamuddira mu bigere yali Margaret Zziwa, ate nga bombi baatandikira mu bukiiko bwa RC l mu 1986. Kazibwe bwe yadda ewaabwe e Kigulu mu Busoga mu kulonda kwa CA mu 1994, Margaret  Nantongo ne yeenyigawo era n’awangulira waggulu okukiika mu C.A. ate okulonda kwa Palamenti eyoomukaaga bwe kutuuka mu 1996 n’awangulira watono Naava Nabagesera.

Mu kalulu ka 2001, Zziwa ne bba Capt. Francis Babu wamu ne Mw. Tom Kayongo be bannamuvumenti bokka abaawangula akalulu ka Palamenti mu Kampala. Kyokka Uganda bwe yeeyubula mu 2005 n’efuuka ey’ebibiina, Margaret Zziwa, yawangulwa omuwala omuto mu byobufuzi Nabilah Naggayi Sempala, eyali yaakatondawo ekibiina kya Social Democratic Party era nga yali Kansala omukazi owa ggombolola ya Ssaabagabo -Makindye mu lukiiko lwa LC V e Wakiso.
Olwo yali afuuse wa FDC era nga Dr. Kizza Besigye asse omukago ne Al Haji Nasser Ntege Sebaggala owa DP.

Yawangudde atya obwasipiika

Awo Muky. Zziwa kwe kwesimbawo akiike mu Palamenti y’obuvanjuba bwa Afrika mu 2006 akalulu ne bakamuweesa ebiri. Bagamba nti ng’oggyeeko eky’okuba nti abalwanyisa Katikkiro wa Uganda era Ssaabawandiisi wa NRM Amama Mbabazi, baawagidde Zziwa okulemesa Muky.Dora Byamukama eyabadde asimbiddwaawo Uganda mu butongole.

Olukiiko lwa baminisita b’omukago nga bakulemberwamu owa Uganda, Eriya Kategaya, babadde bamukuyegera, okwo ogatteko Sipiika wa Uganda Rebecca Kadaga n’abakakaalukanyi b’ebyobufuzi aba NRM nga Muhammad Nsereko n’ebibiina nga Betty Amongi owa UPC ne Odonga Otto owa FDC.

Ebifa ku Zziwa
Margaret Nantongo Zziwa yazaalibwa nga August 23 1961 e Mpereerwe mu ggombolola y’e Kawempe mu Kyaddondo. Muwala wa Charles ne Josephine Mugerwa. Yasooka kusoma bwakalaani n’abufunamu dipulooma era yakoleranga mu UCB.

Ne bwe yakiikanga ku nkiiko za RC III ne RC V awamu ne C.A. Muky.Zziwa teyaleka bwakalaani mu UCB, ky’ova olaba nga yali musaale okugiremesa bamafiya okugitunda kyokka n’alemererwa.

Asomye diguli n’abula okuzimalayo omuli ey’ebyenfuna okuva mu yunivasite e Makerere, eyookubiri yagisomera Stirling mu Bungereza, ate n’ayongerako endala nnyingi.  Zziwa ayogerwako ng’atali nnakigwanyizi mu byobufuzi, ate abalala bagamba nti kati ne bba Capt. Babu anaakendeeza okwemulugunya okuva lwe yagobwa ku bwaminisita!
Muky. Zziwa yagambye nti emirimu yagitandikiddewo dda.

Yamaze okusisinkana ab’omukago gwa Bulaaya kati agenda kubakana na musomo gwa kusomesa babaka abagole.
 

Margaret Zziwa: Yatandika nga kalaani, kati ali ku ddaala lya nsi yonna

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...