TOP

Munnakibuga omuyaaye

Added 21st January 2011

Tulina okugwako sayidi z’e Mukono n’e Kakiri ku mabbeesi mwana abayaaye babeere sitede okusapulaayinga masitooko gonna tugakwatemu eddene. Wabula simanyi oba chali oli Kayola akulira ekikoosi oba yavudde mu bishiiti kubanga bu Popi bwamujiimba wiiki eri nga bulyawo ba kamenyo abakoona abatuuze o

Tulina okugwako sayidi z’e Mukono n’e Kakiri ku mabbeesi mwana abayaaye babeere sitede okusapulaayinga masitooko gonna tugakwatemu eddene. Wabula simanyi oba chali oli Kayola akulira ekikoosi oba yavudde mu bishiiti kubanga bu Popi bwamujiimba wiiki eri nga bulyawo ba kamenyo abakoona abatuuze obubbadi n’obutayimbwa nga bw’okitegeera mwana.

Wiiki ejja mbadde bboyi ntandise okugikubagana naye nnawulidde mbu jama, kazende Musabba agenda kutandika okulookeera obululu mu malaare mu site ne ku nniya ate nga twali twapanga dda okubayiiya.

Omanyi eryo li kkampu lye lisinga okubaamu omutete ate ng’abajama bangi okuyiiya kubanga bataawa ababbisanya mwana babali ku ttaya. Wabula ennaku zino ntandise okukubagana kubanga bu Popi ennaku zino ndaba buli bbooji mu site simanyi mupango gwe buliko mwana.

Ffe ababeera mu kuyiiya tayimu yonna mwana bwe weeziga bu chali modulo eyo tolema kukubagana kubanga tomanya mipango gye buliko ate ogenda okulaba nga bwesiteeginze mu buli kkava.

Ekisinga okunkubaganya mwana bulabika bugenda kulyawo akakoosi ka Kibooko Sikwadi ke tubadde tupanga okuyiyizaamu tayimu y’akalulu. Waliwo luteeni mu kakoosi ako chali waffe mwana twali twamutemera dda okutupangira naye ennaku zino ali mu kwezigaaziga ate ennaku ziggwayo.

Wiiki eno mwana tutandike okumuwenja kubanga ayinza okutandika okutuwanvuya n’atukubirayo. Twegweko edda bboyi naye bwe wabaawo ekibwatuka onnegulako fiiti nga bulijjo nange ne nzigayo fiizi za ba tooto.

Munnakibuga omuyaaye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...