TOP

Oluggya lusimbemu emiti okulabika obulungi

Added 5th November 2010

Christopher Mayanja, omukugu mu kulabirira empya agamba nti oluggya lwetaagamu akatundu k’ebimuli amaaso kwe gawummulira omuntu n’afuna ku ssanyu. Omuntu buli lw’afuna ekintu ekimusanyusa, olunaku lwe luba lulungi n’emirimu ne gitambula bukwakku.

Mu ngeri y’emu n’emiti gya mu

Christopher Mayanja, omukugu mu kulabirira empya agamba nti oluggya lwetaagamu akatundu k’ebimuli amaaso kwe gawummulira omuntu n’afuna ku ssanyu. Omuntu buli lw’afuna ekintu ekimusanyusa, olunaku lwe luba lulungi n’emirimu ne gitambula bukwakku.

Mu ngeri y’emu n’emiti gya mugaso nnyo mu luggya. Okusooka givaamu empewo ensengejje omuntu n’asobola okuba omulamu obulungi, n’okuleeta ebisiikirize. Wabula emiti egy’ekika kino tegyetaaga kuba miwanvu nnyo okwewala okuwogoka ne gikola obubenje ng’okuba enju, abantu n’ebintu ebirala.

N’olwekyo kyandibadde kirungi n’osimba emiti egitawanvuwa ng’ate osobola okugiryako ebibala okugeza ng’emiyembe, emicungwa, amapeera n’emirala.
Emiti egisimbibwa mu ngeri eno emirala mulimu Crebia, tabibua, ficus, Benjamin ne nnyambalabutonnya. Wabula era gyetaaga okukomolwa n’okusalira okwewala okusaakaatira ekiyinza okuleeta emisota, ebisaanyi n’ebiwuka ebirala eby’obulabe.

Omuddo nagwo mukulu nnyo mu luggya naddala singa gukuumibwa nga muto. Guno gukwata ettaka ne litakulugguka ate nga gukuuma ne kiragala mu luggya. Ne bw’oba oluggya oluyiyeemu kkoolaasi kyandibadde kirungi n’osigazaako akatundu akalimu omuddo.

Okugukuuma nga gwa kigero ate nga tokozesezza nsimbi nnyingi, omuntu yandibadde agula akuuma akasaawa akayitibwa ‘Bush Cutter’ oba okufuna oluso. Bush Cutter kagula wakati wa 1,300,000/- ne 2,000,000/-.  Omuntu asobola okukakozesa ye yennyini naddala singa aba n’oluggya olutono ate nga n’amafuta kanywa matono ddala.

Bya Edward Kalumba

Oluggya lusimbemu emiti okulabika obulungi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...