TOP

Ebintu 10 by’olina okukola onyumirwe olw’abaagalana

Added 12th February 2010

Okwewala okutuuka mu mbeera eno, waliwo ebintu ebiwerako ebisaanye okwekkaanyizibwa olunaku lubagendere bulungi.
lLonda omuntu gw’ogenda okumala naye olunaku. Bw’oba n’abaagalwa abawerako, kirungi olondeko omu gw’oba omala naye olunaku. Togezaako kubakwataganya bonna kuba kijja kukum

Okwewala okutuuka mu mbeera eno, waliwo ebintu ebiwerako ebisaanye okwekkaanyizibwa olunaku lubagendere bulungi.
lLonda omuntu gw’ogenda okumala naye olunaku. Bw’oba n’abaagalwa abawerako, kirungi olondeko omu gw’oba omala naye olunaku. Togezaako kubakwataganya bonna kuba kijja kukumalira ebiseera ate era tojja kunyumirwa.


lBw’oba tolina muntu gw’oyagala bya laavu, oyinza okusalawo olunaku okulumala ne mukwano gwo oba owoluganda. Ky’olina okumanya nti olunaku luno lwa kulaga mukwano omuntu yenna gw’ofaako era gw’olowoozaako. Tokitwala nti olw’obutabeera na mwagala tolina kukuza lunaku luno.

l Ekirala bw’oba tolina mwagalwa gwe weekakasa si kirungi kulowooza nti waliwo anaakulowoozaako. Singa onootandika okulowooleza mu balala ojja kunyiiga kuba kyangu obutabaako na muntu akulowoozaako ku lunaku luno. Ali mu mbeera eno kola pulaani nga bukyali olabe bw’onoomalamu olunaku luno.

l Bw’oba n’omwagalwa wo tewali nsonga lwaki tomugulira kirabo ku lunaku nga luno. Ekirabo ky’omuwa tekirina kuba kya bbeeyi, wabula kibeere n’amakulu. Valentayini emanyiddwa ng’olunaku lwe batonerako ebimuli. Ggwe salawo obe wa njawulo, munno omuyiiyize akalabo ak’enjawulo ate nga kalungi.

 lWeewale okusaasaanya ssente ennyingi ku lunaku luno. Bw’oba nga munno omwagala era nga naye akimanyi tewali kikusuula mu mabanja olw’olunaku olumu. Mukolere ekyo ekigwa mu ssente eziriwo ajja kukutegeera. Ekirala bw’oba oli n’omuntu gw’okyakwana weewale okumusaasaanyizaako ssente ennyingi, kuba ayinza okugaana okukuganza ate n’omulaba ng’omuyaaye.

lFuba okulaba ng’olina omuntu gw’osanyusa ku lunaku luno. Teweekwasa nti lunaku lwa Bazungu nti oba lwa kwonoonerako ssente. Jjukira nti okulaga omukwano kikulu mu bulamu bw’omuntu. Bw’obaako ne gw’osanyusa naawe muli oyongera okusanyuka.
lKola entegeka nga bukyali. Tolinda ku Ssande ku makya n’olyoka otandika okubuuza munno ekifo gy’ayagala mucakalire ku lunaku olwo. Kirungi otegeke kati, we bukeerera omutegezeeko butegeeza. Kino kijja kwongera okumulaga nti omwagala era omufaako.

lWeewale okulya ng’asiibula ensi. Wadde olunaku lwa kulya , kunywa na kusanyuka naye lya ekisaanidde. Ne bw’oba olina omuntu akututte okukucakazaamu, tomulaga nti owoomerwa nnyo emmere ng’osaba buli kyakulya ekikusala mu maaso. Lya ekisaanidde era kikulu n’okubalirira oyo akututte okukuwaamu.

Kino ky’ekimu n’omwenge. Bw’oba onywaako, fuba okulaba nga totamiira kutuuka kugangayira, munno ojja kumubuzaako emirembe.
lSengejja mwebyo by’oyogera nga muli mwembi. Emirundi mingi abaagalana ababa bagenze okusanyuka ate badda mu kuyomba na kulwana. Entabwe esinga kuva ku mboozi ze banyumya omu n’anyiiga olwo ne batandika okuyomba. Fuba okulaba nga weefuga mu mbeera zonna olunaku luleme kukusala. Fuba okuba nga buli ky’okola ekigendererwa kya kusanyusa munno gw’oli naye.

lMunno bw’aba akuwadde kitono totandika kumulangira naddala nga muli mu bantu. Manya nti ekirabo ne bwe kiba kitono kisigala kirabo, era amakulu gaakyo kulaga muntu nti omulowoozaako era omwagala.

l Fuba okulaba ng’oggyawo ebikweraliikiriza byonna ku lunaku luno. Tekiwa makulu okusalawo okulwanagana n’okuyomba ku lunaku nga luno. Kubanga lunaku lwa kujaguza olwa laavu.

MBAAGALIZA VALENTAYINI
EY’ESSANYU.

Ebintu 10 by’olina okukola onyumirwe olw’abaagalana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakyala eyakulembedde banne abafumba emmere mu katale k'e Wandegeya ng'alaajanira pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga ezibasoomooza mu katale.

Abakyala balaajanye ku mivu...

"Twagala pulezidenti ayingire mu nsonga zaffe kubanga tetuganyuddwa mu nteekateeka zonna ze yateeka mu katale...

Fr. Kabagira ne Fr. Henry Mubiru nga bassa ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga bwe baabadde bamujjukira.  Yafa nga February 22, 1966.

Abakkiriza bajjukidde Ssaab...

Ssabasumba Kiwanuka yafuuka ssaabasumba okuva mu 1960 okutuuka bwe yafa mu 1966.

Amagye nga gazinzeeko enfo omubadde mutenderwa ababbi mu kibira kye Kapcheli.

Amagye galwanaganye n'ababb...

Mu kikwekweto ekyakoleddwa amagye ne poliisi, baazingizza ekibira ky'e Kapcheli abazigu bano mwe babadde beekweka...

Emmotoka ng'eno erina okuba n'ebiwandiiko ku ngeri gye yafunamu akabenje.

Buli mmotoka eyagwa ku kabe...

Minisitule y'eby’enguudo n'entambula esabiddwa okubaga amateeka mwe bagenda okuvunaanira buli muntu anasangibwa...

Omubaka Ocan ng'akwasa Kalidinaali ebirabo.

Kalidinaali asiimye Omubaka...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala alabiseeko mu lujjudde oluvannyuma lw’ebbanga ng’abantu bamwebuuza. Kalidinaali okulabikako...