TOP

Munnakibuga omuyaaye

Added 1st January 2010

Bboyi omanyi nali neeseetinze omwaka guno nsaliyane bbala nange nfuuke bijjo w’omu site naye mwana bigaanyi. Akadiiru akasinga ke nali ntegemeya ka kugwa Sausi ne zi bbomu zange ku kkava abatuuze banyenye amatabi naye abajama Abangere be nali nseetinga nabo mwana simanyi oba beekuba bwekubi kubang

Bboyi omanyi nali neeseetinze omwaka guno nsaliyane bbala nange nfuuke bijjo w’omu site naye mwana bigaanyi. Akadiiru akasinga ke nali ntegemeya ka kugwa Sausi ne zi bbomu zange ku kkava abatuuze banyenye amatabi naye abajama Abangere be nali nseetinga nabo mwana simanyi oba beekuba bwekubi kubanga okuva lwe nabaliira mu ddiiru ne balinnya embaati okuddayo mwana tebanyigiranga wadde ku li fooni.

Ate nga bw’oziga ebyaffe mwana nze sibeera na ttayimu ebayigga ku fooni ate n’ejja lyaffe mwana omanyi lya kuyiiya toyinza kumala ganoonya Bangere modulo eyo. Wabula simanyi oba waliwo ba shapu ba bukalaamu abanjabya bboyi ne babalyawo kubanga waliwo ga ppepa ge bandekera agaliko meyiro ne ngakwasa kijaana omu owa yintaneti annyambe era ne mmutemera n’ejja lye yansaba naye buli tayimu ng’ankuba masitoole mbu abajama tebannaba kuddamu ate ne we yali ayiiyiza ka yintaneti bboyi yasikamu kati sikyamuziga.

Naye tayimu yonna we mugwirako laazima ajja kungwako ate bwe naamusanga nga yakikwata bboyi awo nga tutandika okumuyiiya laazima tajja kukyagala.

Ekirungi bboyi omwaka nagutandise na bisima kubanga eggulo ku Lusooka nakikutte fiiti gye nazubidde. Omanyi nasookedde sayidi za Sheraton nga tuli ne kakijaana kange kamu mwana nga tucaayingira wamu mu layini engeri abatuuze gye baabadde abangi ate nga bayidde fiiti baagala kumalako mwaka eyo ne tulyayo ga fooni agawera.

Munnakibuga omuyaaye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?