Enkola eno eyitibwa Skype. Okusooka kibadde kyangu okukuba essimu ebweru ne twogera n’abantu baffe kyokka ogenda okumala nga bbiiru nnene nnyo. Okuyungibwa ku nkola eno oteekwa okubeera ne ‘Credit Card’ okubeera ssente ze bakusalako oba okugenda ku mukutu gwa www.skype.co.uk n’oggulawo akawunti.
Ofuna akuuma akayitibwa ‘Magic Jack’ akalinga Flash soma fulaasi n’okasonseka ku kompyuta. Bw’oba oyagala kwogera mu kyama, ofuna emizindaalo gy’oku matu n’ogisonseka ku kompyuta n’oluvannyuma n’okebera oba musobola okwogeraganya n’omuntu ali mu nsi endala.
Akuuma ka Magic Jack kakuwa omukutu gw’ensi yonna n’olondako ensi gy’ogenda okukuba essimu. Bakuwa koodi y’ensi eyo n’oyongerako nnamba y’omuntu ne mutandika okwogera ku bwereere.
Enkola ya Skype osobola okwogera n’omuntu ng’okuba ku ssimu y’olukomo, mobile n’okuweereza obubaka ku ssimu. Wabula gw’okubira bw’aba tali ku nkola ya Skype osasulayo ssente entonotono. Naye bw’aba ku nkola eno okubira bwereere.
Mu kiseera ky’ekimu enkola eno esobola okukuyunga ku yintanenti n’ofuna amawulire g’ensi yonna, eby’emizannyo n’ebintu ebirala. Akuuma ka Magic Jack kagula pawundi 1,000 eza Uganda 3,200,000/-.
Newankubadde enkola eno emazeewo emyaka egisukka mu ena, wano e Uganda batono nnyo abagimanyi.
Bayiiyizza enkola y’okukuba ssimu ng’okozesa kompyuta