TOP

Bino tebirina kubula mu luggya olw’omulembe

Added 26th June 2009

Kamada Lwasa  nnannyini kkampuni etunda ebimuli n’okuyooyoota empya eya Green House e Ntinda annyonnyola engeri oluggya olw’omulembe gye lulina okulabikamu.

“Olina okulonda omuti ogutuukaana ne dizayini  y’oluggya. Okugeza bw’oba walukola nga lwetooloovu, oteekwa kusimbamu emi

Kamada Lwasa  nnannyini kkampuni etunda ebimuli n’okuyooyoota empya eya Green House e Ntinda annyonnyola engeri oluggya olw’omulembe gye lulina okulabikamu.

“Olina okulonda omuti ogutuukaana ne dizayini  y’oluggya. Okugeza bw’oba walukola nga lwetooloovu, oteekwa kusimbamu emiti egikula nga gyetooloola.

Oluggya olw’omulembe mulina okubaamu ebibala, kyokka bino birina okuba ebirongooseemu okusobola okubaliri ebbanga ettono, kubanga ebitali birongooseemu biwagguuka nnyo ate ne birulabisa bubi.

Lubeeramu obulimiro obutonotono. Muno mw’olina okusimba enva endiirwa nga nakati, emboga, ebbugga, ddoodo n’endala.

Ebinazi  ‘palm tree’ nabyo tebirina kubula mu luggya olw’omulembe. Bino birimu ebika era birabisa bulungi oluggya.

Ensuwa (pots) mw’osimba ebimuli kakasa nga zikwatagana ne langi y’ennyumba. Ensuwa eziteekebwamu ebimuli ebiwanikibwa ku muti zaawukana n’ezo omusimbibwa ebimuli ebiteekebwa ku mbalaza.

Omuddo gw’osimba nagwo gwegendereze. Paasikalamu asinga obulungi y’oyo ow’e Zimbabwe, kifuta, dwaff, jiija ne kharozie. Ebika bino bikwata mangu ate birabisa bulungi oluggya.

Ebimuli by’osimba nabyo birina okutuukana ne dizayini y’oluggya . Okugeza bwe luba lwetooloovu era n’ebimuli bisimbe ng’obyetoolooza.

Waliwo ebika by’ebimuli ebinyumira awaka okugeza;

l Julante:  Kano abasinga baakakazaako lya CHOGM, kubanga kaasimbibwa nnyo mu biseera olukung’aana lwa CHOGM we lwabeererawo.

l Roses: Bino bitera kubeera mu langi emmyufu ne kyenvu. Byetaaga okulabirira ennyo okukula.

l Faika Benjamin: Kino kikula kyewumba nga kirina ebikoola ebifaananako nga eby’omuti ogw’omusasa.
lColton: Bino biba mu langi eya kiragala, kyenvu, n’emyufu.

l Faani kano kaba ka kiragala wabula kalabika nga akakole obukozi [artificial], kalina obukoola butono bulinga olubaati.

Bino tebirina kubula mu luggya olw’omulembe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmanuel Sserunjogi meeya we Kawempe.

'Gavt enoonyereze ku nfa ya...

MEEYA w'e Kawempe asabye gavumenti okunoonyerezza ku ngambo eziyitingana ku nfa ya Ssaabasumba n'okulekulira kwa...

Lumu omusomesa w'e Gayaza ng'ayimba.

Omusomesa w'e Gayaza Junior...

  Omusomesa wa Gayaza Junior School   Richard Lumu ayiiyiiza oluyimba olukungubagira Ssaabasumba Cyprian Kizito...

Fr.Sserugga ng'abatiza omwana.

'Mwegendereze amannya ge mu...

Abazadde bakubiriziddwa bulijjo okubeera  abegendereza ennyo ku mannya ge batuuma abaana baabwe beewale okumala...

Omulabirizi Tamale n'abamu ku bannaddiini mu kusaba kwa Paasika.

Okufa kwa Ssaabasumba kutuk...

OMULABIRIZI wa West Buganda, Rt. Rev Henry Katumba Tamale ye yakulembeddemu okusinza kwa Paasika mu Lutikko ya...

Ssaabasumba Jonah Lwanga ng'asaba ku Paasika.

Eklesia y'Abasodokisi mu Ug...

EKLESIA y'Abasodokisi mu Uganda esabidde Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ng'Obuganda bw'etegekera okujaguza amazaalibwa...