TOP

Ekiri mu Kataba kika!

Added 16th May 2012

BUKEDDE azudde obufo obusingamu bamalaaya mu Kampala n’ebisale bye basaba bakasitoma. Waliwo akafo akaweza ekisaawe ky'omupiira nga kimu, kalimu loogi 15 n'obusonda lukunkumuli abaagala zi 'sooti' mwe beenyiga amatumbibudde.

BUKEDDE azudde obufo obusingamu bamalaaya mu Kampala n’ebisale bye basaba bakasitoma. Waliwo akafo akaweza ekisaawe ky'omupiira nga kimu, kalimu loogi 15 n'obusonda lukunkumuli abaagala zi 'sooti' mwe beenyiga amatumbibudde.

 Kano ke kafo akaakazibwako Mukataba e Kabalagala okuliraana enkulungo kyokka ng'owetera ku bbaala ya Café Cherie. 

Oluyingira mu Kataba, ekigambo ky’osinga okuwulira kya ‘kasitoma nze nja kukusalirako swiiti.’ Olwo baba bamalaaya abali mu busonda abambadde bukamiimo nga n’abamu bwe bakusuubiza okukuwa jalibu abalala ennyongeza. 

Oba okyesisiggirizza omulala n’akusaba omuwe 1,000/- okwateko otegeere ky’alinawo olyoke oddemu amaanyi. Abaludde mu Kataba baategeezezza nti okukwatako gye buvuddeko kubadde kwa 500/- bo kye baayise ‘ekido’ kyokka eddubi ly’ebyenfuna lye lyakituusa ku 1,000/-. 

Ku ssente z’osasula nga mukkaanyizza kwe kubeera eza loogi eziri wakati wa 5,000/- ne 7,000/- kyokka nga waliwo abantu abalina obuyumba bwabwe abasaba 1,000/- eddakiika nga 30. 

Eno bamalaaya abasinga bava ku myaka 18 okutuuka ku 40 naye nga mulimu n’abaana abato ab’emyaka 14. Abasinga ku baana abato b’engulu, ab’ebugwanjuba n’amawanga amalala.

Kigambibwa nti abamu ku baana bano bamala kwewaggula ku bazadde baabwe ne babulwa eky’okukola ne basibira ku nguudo.

Abalala baaleetebwa kukomba bbokisi mu Kampala ne bigaana ne bakola guno. Bamalaaya b'eno abasinga basula mu Kasanvu, Go Down ne Soweto wakati wa Muyenga ne Namuwongo mu buyumba obw'enzigotta ennyo nga n'obumu bwa bibaawo. 

Ekiro basaasaana ne beetundira ne ku Speke Road olwawula Speke Hotel ne Sheraton Hotel, Rock Gardens, Serena Hotel, ne ku nguudo endala mu Kampala. 

Wabula mu Kataba basulayo abatonotono ekibalemesa okusulayo abangi lwa buseere bwa nnyumba. Mu Kataba omuzigo ogumu gwa 100,000/- ate mu Kasanvu gwa 40,000/-. 

Erinnya Kataba lyava ku ngeri abantu gye bacakaliramu mu kafo kano abamu kye baayita nti akatundu kabeera katabye obudde bwonna olwo erinnya ne likala. 

Wabula bamalaaya bano bagamba nti bagenze bongeza ebisaale kubanga buli kintu kirinnye omuli ebizigo, entambula, loogi, enju n’ebirala.

Ekiri mu Kataba kika!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omubaka Ocan ng'akwasa Kalidinaali ebirabo.

Kalidinaali asiimye Omubaka...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala alabiseeko mu lujjudde oluvannyuma lw’ebbanga ng’abantu bamwebuuza. Kalidinaali okulabikako...

Poliisi ng’etwala Galabuzi (ku mpingu) ne mukyala we (ku ddyo) ku poliisi.

Babakutte kutulugunya mwana

ABATUUZE b’e Mbuya Kinnawattaka- Katoogo bavudde mu mbeera ne batabukira abafumbo abaludde nga batulugunya omwana...

Mugula ng’akutte amagi amafu ge baabakutte nago. Mu butono nabo baakwatiddwa.

Abagula amagi amafu ne bako...

POLIISI y’e Katwe ekutte abasajja bana abagambibwa okugula amagi amafu ne bakolamu keeki ze baguza abantu e Nateete....

Abazannyi ba Police nga bajaganya.

Police efunvubidde ku kikopo

Airtel Kitara 2-3 URA Police 3-1 Onduparaka UPDF 2-0 Mbarara City POLICE FC obusungu bw’okukubwa Vipers ebumalidde...

Derrick Kakooza, eyateeba ggoolo ey'obuwanguzi ku Mauritania.

Hippos erwanira World Cup

Leero mu Africa U-20 Cup of Nations (Quarter) Cameroon -Ghana,1:00 Burkina Faso - Hippos, 4:00 ez'ekiro ...