
LOODI Meeya wa Kampala, EriasLukwago agaanyi okukyusa akabonero wadde langi za KCCA enkadde ku bintu byonna ebiri mu ofiisi ye nti entegeka teyagoberera mateeka era palamenti egenda kusooka kubasalirawo.
Yategeezezza eggulo mu ofi isi ye nti byonna ebyakolebwa ku kukyusa akabonero ne langi tebyayita mu mitendera mituufu era biteekwa okuyimirizibwa.
“Olukiiko olufuga Kampala (KCCA) terwabiteesaako, palamenti wadde olukiiko lwa baminisita era nze sisobola kukkiriza kukyusa gganduula yange wadde akabonero konna ku kintu ekiri mu ofi isi yange” Lukwago bwe yagambye.
Yagambye nti okwemulugunya yakusindise mu palamenti emuyambe.
Loodi Meeya Lukwago.
Lukwago agaanyi akabonero ka KCCA