TOP

Buli wiiki waliwo edduuka erimenyebwa mu akeedi'

Added 6th February 2013

ABASUUBUZI abakolera mu akeedi n’amaduuka beemulugunya ku bannannyini bizimbe olw’obutabateerawo bukuumi bumala ne bababba emmaali yaabwe entakera.

Nasifu Mukiibi ng’alaga ababbi we baamenye ne banyagulula ebintu by’omu dduuka lye.

Bya Eria Luyimbazi


ABASUUBUZI abakolera mu akeedi n’amaduuka beemulugunya ku bannannyini bizimbe olw’obutabateerawo  bukuumi bumala ne bababba emmaali yaabwe entakera.

Kino kiddiridde ababbi okumenya amaduuka ne babba abakolera ku akeedi ya MM Plaza ekya Mansoor Matovu amanyiddwa nga Yanga.

Omu ku basuubuzi abakolera ku kizimbe kino, Michael Kinene nga yabbiddwa yagambye nti ababbi bamumenyedde sityudiyo ne batwala kamera ze.

“Obuzibu obuli ku kizimbe kwe kuba nti tekuli bukuumi bumala. Ffe wano tulabayo omukuumi omu yekka, ono tasobola kulawuna kizimbe kyonna. Kino kye kiwa ababbi omukisa okutumenyera amaduuka gaffe.

Yategeezezza nti bagezezzaako okutuukirira nnannyini kizimbe okumutegeeza ku nsonga eno kyokka tabafuddeeyo kuba buli wiiki waliwo edduuka ababbi lye bamenya naye tewali kikoleddwa.


Yagasseeko nti ensonga z’okubamenyera amaduuka bazitutte enfunda eziwera ew’omugagga ne poliisi kyokka tebafaayo.

“ Waliwo gwe twakwata n’ebintu ebyabbibwa mu dduuka erimu ne tumutwala ku poliisi kyokka n’ateebwa n’omusango ne gufiira awo,” bwe yagasseeko.

Ye omugagga Matovu Yanga bwe yatuukiriddwa yagambye nti, agenda kutuula n’abasuubuzi abakolera ku kizimbe kino basalire wamu amagezi ku ngeri gye bayinza okunywezaamu ebyokwerinda kuba ye tasula ku kizimbe kino.

Yategeezezza nti okusobola okunyweza ebyokwerinda agenda kuleeta embwa zongere ku bukuumi okusobola okutangira ababbi.

Amaduuka agamenyeddwa kuliko lya Edit City, Cinetex Studio n’erya Bol Media nga gonna abazigu babbye mu kkamera ezikozesebwa okukwata n’okukuba ebifaananyi ezibalirirwamu obukadde obusoba mu butaano.

Mu akeedi ezitera okumenyebwa mulimu Zainab Aziiza, Namaganda. Kuno kw’ogatta ne mu Kikuubo.

Kinene ng’alaga edduuka lye eryamenyeddwa.

Bannannyini bizimbe tebafaayo–Poliisi

POLIISI enenyezza bannannyini bizimbe okulagajjalira ebyokwerinda ekiwadde ababbi omukisa okumenya  amaduuka g’abapangisa baabwe.

Omuduumizi wa poliisi ya CPS, James Ruhweza yagambye nti bannannyini bizimbe bakikola mu bugenderevu ne bagaana okussaaako abakuumi abamala ku bizimbe byabwe ekiwa omukisa ababbi okugamenya ne banyaga ebintu by’abasuubuzi.

Yagambye nti Akeedi emu esaana kukuumibwa abaserikale abasukka mu basatu kyokka abamu ku bannanyini bizimbe baagala kuteekako omukuumi omu, atasobola kulawuna kizimbe yekka ekiwa ababbi omukisa okubba.

“Osanga nnannyini akeedi ng’ataddeko omusirikale omu okukuuma ekizimbe kiriko amaduuka agasoba mu 30,’’ Ruhweza bwe yagambye.

Yategeezezza nti ggombolola ya Kampala Central erimu akeedi ezisoba mu 500 kyokka ng’ezimu ebyokwerinda byazo biri bubi. Kino kiva ku bannannyini byo okwesulirayo gwa nnagamba ku byokunyweza ebyokwerinda.

Yagambye nti embeera eno ebiseera ebimu ewaliriza abasuubuzi okwekaalakasa, ng’omwaka oguwedde abasuubuzi abakolera ku kizimbe ky’omugagga Mansoor Matovu (Yanga) beekaalakasa olw’amaduuka gaabwe okumenyebwanga.

“Poliisi ekola gwa kulawuna nguudo za mu Kampala, nga kizibu okukuuma buli kizimbe sso nga bannannyini bizimbe bakung’aanya ssente ezisoba mu buwumbi omukaaga buli mwezi kyokka ne balemererwa okusasulako abakuumi,” bwe yagasseeko.

Wabula waliwo abagagga be tutuukirira ne batutegeeza nti bannannyini maduuka (abasuubuzi) bennyini be bebba.

 


Buli wiiki waliwo edduuka erimenyebwa mu akeedi’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...