TOP

Baddereeva balwanidde mu lukiiko e Kawempe

Added 19th February 2013

WAABADDEWO akanyoolagano n’okuwaanyisiganya ebisongovu mu lukiiko lwa RCCA wa Kawempe, Yahaya Kakooza mwe yakunyirizza abakulembeze b’ekibiina ekigatta baddereeva ne bakondakita ku siteegi ya Kobil e Kawempe ku nsaasaanya ya ssente 6,200,000/- ezirina okuganyula baddereeva. Yalabudde nti bwe bat

Bya SARAH ZAWEDDE      

WAABADDEWO akanyoolagano n’okuwaanyisiganya ebisongovu mu lukiiko lwa RCCA wa Kawempe, Yahaya Kakooza  mwe yakunyirizza abakulembeze  b’ekibiina ekigatta baddereeva ne bakondakita ku siteegi ya Kobil e Kawempe ku nsaasaanya ya ssente 6,200,000/-  ezirina okuganyula baddereeva. Yalabudde nti bwe batagiraga agenda kubasiba.

Baddereeva bakira beerangira obubbi, obutayagaliza, obunnanfuusi n’ebirala era abataabadde na pamiti
ne babagobera ebweru.

Kakooza yalabudde baddereeva ku siteegi eno nti singa tebakomya ffujjo n’okulwanagana, agenda kugiggalawo.
“Saagala muboneebone kubanga siteegi eno lwe lusuku lwammwe naye mwefudde abazibu era bwe nziramu okuwulira abalwanagana nja kubagobawo,” Kakooza bwe yagambye.

Yawadde ssentebe w’ekibiina kino, Ronald Kintu n’omuwanika we, Robert Nsubuga mu kibiina kya Kawempe Maganjo - Kagoma - Kawanda - Matugga Associtaion  wiiki bbiri okulaga ensaasaanya ya 3,200,000/-  ze bakungaanyizza mu bannaabwe mu wiiki ssatu n’endala 3,000,000/- ze beewola  okuva ku ggombolola. 

Kiddiridde baddereeva okwemulugunyiza Kakooza nti abakulembeze b’ekibiina babakaka okukiyingira ne babaggyako ssente kyokka tebaziganyulwamu ne bamusaba balonde obukulembeze obupya. Akulira ebikwekweto mu Kawempe, Dennis Pahan  yalabudde baddereeva poliisi be yaggalira ne bateebwa nti fayiro zaabwe zikyaliyo era bwe baddamu okukola effujjo waakubatwala mu kkooti.

 

Baddereeva balwanidde mu lukiiko e Kawempe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...

Mondo Mugisha ng’ayogera eri abaamawulire. Emabega be bakanyama abassiddwa ku kkanisa okukuuma. Tunuza kkamera y’essimu yo mu kalambe olabe vidiyo.

Pasita Ssenyonga mumuboole ...

Omusumba Mondo Mugisha y’omu ku bakungubazi abeetabye mu kukungubira Paasita Yiga Abizzaayo e Kawaala. Mu butaluma...

Kayanja ng'ali mu situdiyo ye.

Wuuno 'mutabani wa Nabbi Ka...

JOB Kayanja y’omu ku ba pulodyusa abeekoledde erinnya. Wadde abayimbi tebakyakola olw’omuggalo gwa ssennyiga omukambwe,...