TOP

Endwadde endala z'oggya mu Kampala

Added 28th February 2013

MU Kampala mulimu n’eddwadde endala nnyingi naye nga ziva ku birala ebitali kalippagano. Mu zino mulimu;

Bya Josephat Sseguya

MU Kampala mulimu n’eddwadde endala nnyingi naye nga ziva ku birala ebitali kalippagano. Mu zino mulimu;

Waliwo amazzi agateekebwa mu byokunywa ng’obutunda agabaamu obuwuka obusirikitu. Obuwuka okusinga buzaalira mu mbuto ne butulwaza emisujja, typhoid, kkolera ebiddukano by’omusaayi.

Obuveera

Okubufumbisa bulimu ekirungo ekirwaza kumpi ng’omukka gw’emmotoka kubanga nammwo mulimu ‘carbon’ okusinziira ku Dr. Mukasa. Wabula obuveera buno bufumbisibwa kumpi buli omu wano mu Kampala

Enfuufu

Ezibikira emisuwa n’egikosa ne girema okutambuza omusaayi n’empewo.

Endwadde zino ziziyize bw’oti

DR. Ivan Mukasa awa Bannakampala amagezi nti engeri ennyangu gy’oyinza okukendeeza ku nfuufu n’omukka gw’emmotoka okukuyingira kwe kufuna akatambaala oba obubikka ku nnyindo nga buyonjo n’obikka ku nnyindo zo n’omumwa singa wabaawo omukka guno oba enfuufu. 

Agamba nti weewale okuyita mu Kampala wakati buli lw’obeera nga tolinaamu mirimu ne bw’obeera ng’osobola okuyita ebbali bbali n’otuuka gy’olaga ky’oba okola. N’ekirala fuba okulya ebintu ebiyonjo.

Agattako nti basobola okwekebeza okumanya oba balina ebimu ku birwadde bino basobola okukikola abasawo ne babategeerezaawo eky’okukola nga bukyali.

N’ekirala okunywa amazzi okulya ebibala n’enva endiirwa. “Ekisinga obukulu bya Gavumenti okuzimba enguudo ennungi omutali nfuufu n’okuzigaziya akalippagano kaleke kukwata bantu. Kyokka emiti gyetaagisa nnyo okusimba mu Kampala n’awalala wonna awasaana kubanga gye gikendeeza ku mukka omubi oguyinza okulwaza abantu,” Dr. Mukasa bwe yamalirizza. 

Endwadde endala z’oggya mu Kampala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...