TOP

Minisita atongozza okukola oluguudo Kafumbe - Mukasa

Added 11th June 2013

MINISITA wa Kampala, Frank Tumwebaze akambuwadde n’ategeeza nti Gavumenti eteekwa okukyusa etteeka erifuga Kampala kitangire bannabyabufuzi okugenda mu maaso n’okulemesa entegeka zaayo.

 

 

 

 

Bya HANNINGTON NKALUBO NE JANE NDIBALEKERA


MINISITA wa Kampala, Frank Tumwebaze akambuwadde n’ategeeza nti Gavumenti eteekwa okukyusa etteeka erifuga Kampala kitangire bannabyabufuzi okugenda mu maaso n’okulemesa entegeka zaayo.

“Omuntu n’olemesa okutuuza olukiiko luyise embalirira y’ekitongole kati oba oyagala enkulaakulana?. Kati olutalo oluddako lwa kukyusa tteeka.

Tetugenda kukkiriza kibuga kubeera mu mbeera embi nga bwe kyali nga DP yeefuga kubanga bo beemalira ku kutunda butale,” Tumwebaze bwe yagambye.

Yabadde atongoza okukola omudumu ogugenda okutambuza kazambi mu kitundu kya Kisenyi n’oluguudo lwa Kafumbe Mukasa ebimaze ebbanga nga bikaabya abatuuze n’abasuubuzi mu kitundu ekyo eggulo.

Yagambye nti Gavumenti ekooye bannabyabufuzi abatava mu mawulire nga balemesa buli ekikolebwa.

“Ebintu bino ebikolebwa wano mu Kampala biyamba Buganda n’abantu ababeeramu era enkulaakulana ereetebwa mu Kampala eyamba kitundu kino naye abantu ne bakozesa emikutu gy’amawulire okulemesa n’okuvumirira ebikolebwa Gavumenti lwaki Embeera y’okuvuma n’okutiisatiisa eweddewo kati kye kiseera etteeka likyusibwe, “ Tumwebaze bwe yagambye.

Yategeezezza nti ye yajja kuwagira Jennifer Musisi akole emirimu gya Gavumenti era mwetegefu okwang’anga omuntu yenna amulemesa. Yalagidde omuduumizi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Andrew Kaweesi akwate omuntu yenna agezaako okulemesa abakozi ba KCCA nga bakola emirimu gya Gavumenti.

Jennifer Musisi yategeezezza nti ebyokwogera yabivaako kati alaga bikolwa “bannabyabufuzi abaagala okwogera nze nabavaako ntereeza kibuga,” bwe yagambye.

Oluguudo lwa Kafumbe Mukasa ne Kabakanjagala zibadde zinsuza seebaze naye kati zigenda kugwa ate nziremu okuwulira bannabyabufuzi abagamba nti tetukola” Musisi bwe yagambye.

N’agatako nti kyeyasookerako kwe kugoba kkampuni zonna ezikola gadibe ngalye era kati akolagana ne kkampuni ezirina obusobozi. “ngenda kukola enguudo zonna mu Kampala era Gavumenti egenda kutuwa ssente tuzikole.

Nsaba abantu mutuwaggire tukole ebintu nga nnamwe muwagira kkampuni ezikola,” Musisi bwe yagambye.

Kkampuni ya Dotts Services yeeweereddwa okukola omuddumu gwa kazambi ogwasooka okugiremerera naye kati ereese ba yinginiya abakugu.

Bagiwadde obuwumbi Busatu n’obukadde 200 okukola omuddumu mu bbanga lya myezi ena oluvannyuma kkampuni ya Stirling Engineering nayo ekole oluguudo lya Kafumbe ku buwumbi bwa ssente butaano.

Abasuubuzi basiimye Gavumenti okubaggyira era ssentebe wa St. Balikuddembe Godfrey Kayongo Nkajja n’ategeeza nti asaba omulimu gukolebwe mu budde ate ku mutindo kubanga agenda kubayamba.

 

 

Minisita atongozza okukola oluguudo Kafumbe - Mukasa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kangaawo ng'ayogera e Butuntumula.

Kangaawo akunze Abalemeezi ...

OMWAMI wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza ly' e Bulemeezi, Kangaawo Ronald Mulondo agugumbudde bassemaka  abaganza...

Pulezidenti wa DP Norbert Mao ne Ismail Kirya mu lukiiko ne bannamawulire.

Aba DP basabye Gavt. okuliy...

BANNAKIBIINA kya DP basabye Gavumenti okuliyirira abantu bonna abagenda okufiirwa ettaka awagenda okuyita payipu...

Dayirekita Wambuga (ali mu kkooti) ng' agezaako okunnyonnyola abasomesa abamutabukidde.

Abasomesa batabukidde dayir...

Emirimu gisannyaladde ku ssomero lya Good Luck Junior School e Katalemwa mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti...

Omukazi nga bamusitula okumussa ku kabangali bamutwale mu ddwaaliro.

Kabangali ya poliisi etomed...

KABANGALI ya poliisi ewabye n'erumba okukazi abadde atambulira ku mabbali g'ekkubo okukkakkana ng'emumenye okugulu....

Mu Kkooti ye kkansala w'e Luzira, Willy Turinawe  ng'atottola obulumi bwe bayitamu.

Abatuuze batabukidde abayoo...

ABATUUZE ba Stage 7 e Luzira ekisangibwa mu Munispaali y'e Nakawa bavudde mu mbeera ne batabukira abakozi ba Kkampuni...