TOP

'Tewali kiremesa kakiiko ku Lukwago'

Added 4th July 2013

MINISITA wa Kampala, Frank Tumwebaze ayanukudde abawagizi ba Loodi Meeya, Erias Lukwago abamulumiriza nti yakola nsobi okussaawo akakiiko akamunoonyerezaako ate nga yali awabuddwa Ssaabawolereza wa Gavumenti, Peter Nyombi nti ensonga eziweereddwa bakansala tezirina bujulizi bumala.Bya HANNINGTON NKALUBO NE MUWANGA KAKOOZA

MINISITA wa Kampala, Frank Tumwebaze ayanukudde abawagizi ba Loodi Meeya, Erias Lukwago abamulumiriza nti yakola nsobi okussaawo akakiiko akamunoonyerezaako ate nga yali awabuddwa Ssaabawolereza wa Gavumenti, Peter Nyombi nti ensonga eziweereddwa bakansala tezirina bujulizi bumala.

Yagambye nti okuwabulwa kwa Peter Nyombi tekutwalibwa nga kwa nkomeredde era tekusobola kulemesa kakiiko kukola mirimu gyako. Kyokka Nyombi mu bbaluwa agamba nti ensonga essatu bakansala kwe beesigamye okuli ey’okukozesa obubi ofi isi, obutasobola kukola mirimu n’okweyisa obubi tezeemalirira n’olwekyo akakiiko akabuuliriza ku Lukwago tekandigenze mu maaso.

“Kizibu okukakasa nti loodi meeya yakozesa bubi ofi isi nga weesigama ku bujulizi bw’ebbaluwa bakansala gye baleese nti meeya yawandiika ebbaluwa ng’ayimiriza okugereka ssente za layisinsi z’amaduuka. Bateekwa okukakasa nti mu
bbaluwa yali alimba oba yamenya etteeka erifuga olukiiko,” Nyombi bw’agamba.

Kyokka Tumwebaze yayogedde ku kuwabulwa kwa Nyombi nti: “Oyo yatuwa ndowooza ye ku by’amateeka etesobola kutuggya ku mulamwa.

Ng’oggyeeko ensonga z’abakiise ze beemulugunya ku Lukwago, waliwo ensonga endala ey’obutatuuza nkiiko, Ssaabawolereza gy’asimbako essira era nayo tugenda kugigatta ku nsonga endala ezaleetebwa bakansala omulimu gutambule,” Tumwebaze bwe yagambye.

Yabadde atuukiriddwa omusasi wa Bukedde ku Media Centre mu Kampala ku Mmande.

Okuvaayo kiddiridde oludda lwa loodi meeya okugwa ku bbaluwa ya Ssaabawolereza wa Gavumenti Peter Nyombi ng’awabula minisita nti ensonga essatu bakansala kwe beesigamye okugoba Lukwago mu ofiisi tezirina muzinzi.

Ebbaluwa yagiwandiise nga May 22 n’awaako ne dayirekita wa Kampala Jennifer Musisi kkopi.

Ku butasobola mirimu yawabudde nti obujulizi bwa bakansala bwe baataddeko nti yalemererwa okulonda omumyuka we tebumala.

Ebbaluwa egamba nti wadde etteeka limukkiriza okulonda omumyuka we, yakikola ate nabo ne beenyigiramu era tosobola kugamba nti yali tasobola.

Yawabudde nti ensonga yokka gy’alabamu esobola okugobesa Lukwago , bwe butatuuza nkiiko ate bakansala bateekwa okukakasa nti ddala enkiiko ezaamulema zaali bbiri ate nga zaamuddiring’anwa.

Yawabudde nti ensonga zonna bakansala ze baawaddeyo tebazitwaliddeeko bujulizi bumala kugoba Lukwago. Ebbaluwa yatwaliddwa mu kkooti ku musango Lukwago gwe yawawaabira minisita ng’omulamuzi agenda kugusala nga July 12.

‘Tewali kiremesa kakiiko ku Lukwago’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...