TOP

Okugenda mu kkanisa eno osooka kulaama!

Added 21st August 2013

AMAKANISA gali mu Uganda naye tuzuddeyo eno ey’ebyewuunyo! Ekkanisa eno eyazimbibwa mu kitoogo wakati esangibwa Bukasa mu Kijjwa Zooni mu ggombolola y’e Makindye, naye ng’okutuukayo osaabalira ku kaato ate bw’omala n’osamba ensiko.



Bya MOSES NSUBUGA
AMAKANISA gali mu Uganda naye tuzuddeyo eno ey’ebyewuunyo! Ekkanisa eno eyazimbibwa mu kitoogo wakati esangibwa Bukasa mu Kijjwa Zooni mu ggombolola y’e Makindye, naye ng’okutuukayo osaabalira ku kaato ate bw’omala n’osamba ensiko.

Abasinga okugendayo baba bambadde gaamubuutu olw’amazzi n’ebitoomi. Mu butuufu kizibu okumanya nti gy’ogenda waliyo abantu!

Geoffrey Kimera nnannyini lyato erisaabaza abantu okuva e Bukasa ku lukalu mu bagagga okutuuka mu kitoogo kino wakati agamba nti abantu abaggyako 500/- zokka.

Kimera agamba olunaku bwe lumulamira nga ku Ssande ayinza okufuna 10,000/- anti bangi baba bagenda okutendereza omutonzi wamu n’okulima.

Waggulu ze mpagi ezizise ekkanisa eno. Ate wansi Paasita Mpologoma ya Yuda ng’aliisa abagoberezi ekigambo.

“Naye omulimu guno si mwangu abantu abamu basaabalira ku bbanja ate ne balemwa okukasula. Waliwo n’abanzibako eryato lino ne beesaabaza ku bwereere ate eryato ne balireka oludda olulala. Omanyi bwe mba nninda abantu nange mpummulamu okumpi awo”.

Bwe nnatuuse okugenda ku kkanisa eno Kimera saamusanzeeyo era ne ntandika okuyita nti eryato eryato awo naye nayingirayo era n’antwala.

Ekkanisa eno etaategeerekese linnya omusabira abantu abasukka mu 40 ya Paasita amanyiddwa nga Mpologoma ya Yuda eyakazibwako erya Maama Dina naye ng’amannya ge amatuufu ye Susan Mbabazi era mutuuze wa mu Katongole Zooni e Bukasa.

Paasita Empologoma ya Yuda ng’abuulira abagoberezi be ekigambo. Paasita ono yali ne mu katono.

Ekkanisa baagiwagika na biti okusobola okutangira okugwa, wabula nga wansi baalirirawo emikeeka.
Ekkanisa eno okusinga erimu baana na bakazi.

Samuel Wamono, Ssentebe wa zooni eno agamba nti abantu bano baatandika okusengayo omwaka oguwedde mu September era ne paasita yamutuukirira n’amutegeeza ku nsonga wabula ng’abade tamanyi nti tewali kkubo ligendayo.

Agattako nti ettaka lino lya gavumenti era teritundibwa ayagala y’asengayo n’akolerako ky’ayagala.

Bano nga baakava mu lyato bagenda mu Kkanisa.
 

Okugenda mu kkanisa eno osooka kulaama!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Harold Kaija

Omukunzi wa FDC attiddwa mu...

AKULIRA okukunga abantu mu kibiina kya FDC mu disitulikiti y'e Lyantonde bamusse ne kireka ebibuuzo ku bigendererwa...

Minisita Namugwanya (mu kyenvu) n’omubaka Hussein (ku kkono) n’abamu ku bakulembeze abaalondeddwa.

Gavt. erondesezza akakiiko ...

GAVUMENTI erondesezza akakiiko ak'ekiseera ka bantu bataano mu St. Balikuddembe kagiyambeko okuddukanya akatale...

Amaka ga Kasango (mu katono) e Butabika mu munisipaali y’e Nakawa.

Obukama bwa Tooro buyingidd...

OLUVANNYUMA lwa ffamire okulemererwa okutuuka ku kukkaanya ku by'okuziika munnamateeka Bob Kasango eyafiira mu...

Florence Nabakooza bba Shafique Wangoli yakwatiddwa ng’ali lubuto.

Abaabulwako abaabwe olukala...

ABANTU abaabulwako abaabwe tebamatidde n'olukalala minisita w'ensonga z'omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odong lwe yayajulidde...

Ku kkono; Hope Kitwiine, Mildref Tuhaise, Mercy Kainobwisho, Patience Rubagumya, Connie Kekihembo, Agnes Nandutu ne Irene Irumba.

Abakyala balaze ebirungi by...

ABAKYALA abali mu bifo by'obukulembeze mu by'obusuubuzi balaze okusomoozebwa abakazi kwe bayiseemu olwa corona...