TOP

Muk'omusuubuzi w'omu Ndeeba eyatemulwa yafudde azaala

Added 3rd September 2013

MUK’OMUSUUBUZI w’omu Ndeeba, Steven Ssuuna gwe baayokera mu nnyumba e Lweza Zooni A, yafuddde azaala mu kiro ekyakeesezza Ssande n’omwana gwe yazadde!Bya JOHNBOSCO MULYOWA

MUK’OMUSUUBUZI w’omu Ndeeba, Steven Ssuuna gwe baayokera mu nnyumba e Lweza Zooni A, yafuddde azaala mu kiro ekyakeesezza Ssande n’omwana gwe yazadde!

Cleire Asiimwe 22 abadde yakazibwaako erya Baby Girl yafudde n’omwana we omuwala gwe yabadde yaakazaalira mu ddwaaliro e Mengo, ekivuddeko abooluganda lwa Ssuuna okulumba nnamwandu omukulu ali ku limanda mu kkomera ly’e Kigo.

Asiimwe yali muganzi w’omusuubuzi Steven Ssuuna eyali atunda sipeeya w’emmotoka mu Ndeeba mu maaso ga Petrocity eyayokerwa mu nnyumba ye e Lweza ku nkomerero ya July n’afa nga yaakatuusibwa mu ddwaaliro.

Yaziikibwa ku kyalo Kamaggwa e Kaliisizo mu Rakai. Mukyala wa Ssuuna omukulu, Ruth Jojo, Omusudani yakwatibwa n’aggalirwa mu kkomera e Kigo ng’ateeberezebwa okubaako ky’amanyi ku nfa ya Ssuuna olw’obutakkaanya bwe baali bafunye olwa Ssuuna okufunayo omukazi omulala, Cleire Asiimwe.

Okusinziira ku ssenga wa Ssuuna, Maria Kizza abeera e Kaliisizo mu Rakai, Ssuuna nga tannafa yali yamutegeeza nga Jojo bwe yawera obutamukkiriza kuzaala bweru nga kino kye kyavaako obutabanguko mu maka gaabwe.

‘’Jojo yatandika okukubira Asiimwe essimu ezimutiisatiisa singa kamutanda n’azaalira bba omwana,’’ bwe yagambye.

Asiimwe yaziikiddwa mu maka ga bakadde be Omw. N’omuky. Bosco Lumumba ku kyalo Najja-Lukalu mu disitulikiti y’e Buikwe eggulo ku Mmande ate omwana omuwere yaziikiddwa ku Ssande e Kamaggwa, Kaliisizo mu Rakai awaaziikibwa kitaawe.

Gye buvuddeko Jojo yalaga poliisi obubaka ku ssimu nti waaliwo abaabumuweereza nga bamutiisatiisa okumutta
oluvannyuma lwa bba okufa wabula obubaka buno abooluganda lwa Ssuuna baabutaputa ng’okubabuzaabuza.

Muk’omusuubuzi w’omu Ndeeba eyatemulwa yafudde azaala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...