TOP

Amalwaliro ga KCCA gali ku 'ccupa'

Added 22nd October 2013

AMALWALIRO ga KCCA agamu okwetoloola Kampala ‘malwadde’ ate awalala nga mu Kisenyi ebizimbe birungi n’obujjanjabi gye buli naye entebe nkadde nnyo, abantu obujjanjabi babufuna naye mu bifo ebimu omujjuzo gusukka.



Bya BENJAMIN SSEBAGGALA ne RONALD MUGENYI

AMALWALIRO ga KCCA agamu okwetoloola Kampala ‘malwadde’ ate awalala nga mu Kisenyi ebizimbe birungi n’obujjanjabi gye buli naye entebe nkadde nnyo, abantu obujjanjabi babufuna naye mu bifo ebimu omujjuzo gusukka.

Bannakampala bangi basobola okubeera nga tebakimanyi nti obujjanjabi we buli mu kibuga omuntu gy’asobola okugenda ne bamukolako nga tasasudde munwe gwa nnusu.

Amalwaliro getwogerako kuliko:Kisenyi, Kitebi, Kiswa e Bugolobi, Kawaala, Buziga Kiruddu, Kawempe, Kyanja ne Komamboga.

Ekirungi nti bangi ku bafuna obujjanjabi mu bifo bino bakkiriza nti empeereza yeeyongerako nga gavudde mu KCC okudda mu KCCA ne gafuna n’emmotoka ezitambuza abalwadde kyokka obumulumulu tebubulamu.

Gye buvuddeko, abasawo e Mulago baagoba abalwadde nga babalagira okudda ku malwaliro gano gye baba bafuna obujjanjabi obusooka era gye balina okulabira abasawo bwe kibeera kyetaagisizza ne balyoka babasindika e Mulago.

Eddwaaliro lya KCCA e Kitebi.

AMALWALIRO N’EMBEERA YAAGO

Kitebi Health Centre: Eddwaaliro liri mu ggombolola y’e Lubaga mu muluka gw’e Mutundwe era abalwadde balijjumbira naddala abakyala abazaala era be twayogeddeko nabo bakkiriza nti obujjanjabi babufuna.

Ebizimbe birabika nga tebimala muwendo gw’abantu be bakolako era mu kaweefube ono bateekawo weema wabweru we bakolera ku bantu abamu ng’abo abeetaaga okubudaabuda.

Kiswa Health Centre IV: Lino liri Nakawa. Omuwendo gw’abalwadde abajjanjabirwa eno gweyongerako okuva lwe baggala ery’e Nagulu nga bagenda okuzimbawo eddene bonna ne babazza e Bugolobi.

Newankubadde ng’omuwendo gw’abalwadde gwe yongerako, byo ebizimbe tebyeyongerako. Abalwadde beemulugunya nti olumu balwawo okulaba abasawo.

 

Eddwaaliro lya KCCA e Kawaala.

Kawaala Health Centre III: Lisangibwa mu ggombolola y’e Lubaga, ekifo kifunda okusinziira ku muwendo gw’abalwadde be bafuna.

Bw’otuuka we balindira abalwadde wajjula ne wabooga, kaabuyonjo zibulamu okutereeza kubanga ezimu ez’amazzi tegakyakola bateekayo bidomola.

Kisenyi Health Centre IV: Lino lisangibwa mu munisipaali ya Central. Liri bulungi okusinga ku malala era akulira KCCA, Jennifer Musisi bwe yali yaakayingira ofi isi kye kimu ku bifo bye yasookerako okuggulawo.

Wabula newankubadde ebirala biri bulungi babulamu ebikozesebwa ng’entebe.

Kawempe Health Centre IV: Mu malwaliro ga KCCA gonna lino ddyo lirabika nga ddwadde ddala kubanga n’abajjanjabi bennyini we basula wabi, ebifo awakyamirwa kaabuyonjo nvundu ddala so ng’ekifo abalwadde we balindira abasawo ekitundubaali kyayulika.

Alice Kwagala eyasangiddwa ng’ebisa bimusimba yagambye nti yamaze kusoberwa nga talina kyakukola n’alyoka ajja wano naye nga n’ekifo abakyala we bazaalira kikuba ensisi.

Awatuukira abalwadde ku ddwaaliro lya KCCA e Kawempe.

Buziga Health Centre: Lisangibwa mu ggombolola y’e Makindye naye liri mu mbeera mbi ddala. Ebitanda n’entebe bikadde nnyo ate nga bitono. Kaabuyonjo ya kinnya ate nga n’embeera gy’erimu esaana essaala.

Eddwaliro ku City Hall: Lino lisinga kugaba bujjanjabi obusookerwako nga ku bantu abafunye ebisago.

Terikola ku bakyala ba mbuto. Amalwaliro gano gonna kuliko ebifo we babudaabudira abalwadde ba mukenenya, ebifo ebibudaabuda abavubuka (Teenage centres), abakyala ab’embuto we banywera eddagala n’okujjanjaba obulwadde obwangu ng’omusujja.

KCCA KY’EGAMBA:
Omwogezi w’ekitongole kya KCCA, Peter Kauju yategeezezza nti mu kiseera kino, amalwaliro okuli Kawempe ne Kiruddu enteekateeka ziwedde okugazimba gave ku mutendera gwa Health Centre okutuuka ku ddwaaliro eddene eriwa ebitanda.

Yakiggumizza nti mu malwaliro gano, abantu tebalina kusasula ssente za bujjanjabi.

Omulwadde agendayo n’alaba omusawo ne bamukebera n’okumuwandiikira eddagala n’alifuna okuggyako ng’eddagala ly’ayagala teririiwo lwe bayinza okumulagira agende alyegulire naye nga gavumenti ateekayo eddagala.

“Pulojekiti eriwo ya kuwagira ddwaaliro ekkulu ery’e Mulago okukendeeza ku mujjuzo oguliyo, singa tumaliriza amalwaliro amalala nga Kiruddu ne Kawempe ne gatuuka ku mutendera ng’ery’e Nagulu bwe liri, Mulago ajja kuwewuka,” Kawujju bwe yaggumizza.

Yagambye nti ku ntebe n’ebikozesebwa ebirala ebitaliiyo mu malwaliro mu kiseera kino biri mu nteekateeka okulaba nga bijjuzibwa.

Amalwaliro ga KCCA gali ku ‘ccupa’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.