Bya Hannington Nkalubo
DAYIREKITA wa Kampala, Jennifer Musisi Ssemakula alambudde oluguudo lwa Kafumbe Mukasa olumaze emyaka nga terukolebwa n’ategeeza nti ekibadde kirusibye okutandikibwa mudumu gwa kazambi naye ke guwedde oluguudo lwe luddako.
“Kkampuni ya Stirling Civil Engineering omulimu egenda kugutandika mu November kubanga mu butongole eya Dotts ebadde ekola omudumu ogutambuza kazambi mu Kisenyi emaliriza nga 30 omwezi guno era mbasaba mugumiikirize,” Jennifer Musisi bwe yagambye eggulo.
Yabadde n’abakozi ba KCCA abakugu . Yagambye nti nga bw’azze akola ku nguudo endala z’amalirizza mu Kampala nga eziri mu Kawempe, Nakasero ne Kabakanjagala ne luno olwa Kafumbe Mukasa bw’agenda okulukola ku mutindo yeerabize abagenda okulukozesa nti lubaddeko mu mbeera gye lulimu kati.
AGABYE ENKOKO
Okulambula oluguudo lwa Kafumbe, yasoose kugabira batuuze mu ggombolola y’e Nakawa enkoko za NAADS ezisoba mu 1000 abatuuze bongere okulwanyisa obwavu.
“Okwawukana ku bitundu by’eggwanga ebirala, mu Kampala enkola ya NAADS ekola bulungi era enkoko zino gavumenti ezibawadde mwongere okwekulaakulanya. Tetwagala kuddamu kuwulira ayogera ku bwavu mu Kampala “ Musisi bwe yagambye.
N’ategeeza nti zigenda kuyamba abatuuze abasoba mu 4000 era tayagala kuwulira nti zikwatiddwa bubi.
“Tusookedde mu ggombolola y’e Nakawa naye n’amagombolola amalala gagenda kufuna era abakyala, abavubuka n’abatuuze baffe ab’enjawulo bagenda kwongera okuyambibwa,” Musisi bwe yagambye.
Musisi agumizza ku luguudo lwa Kafumbe