TOP

Lukwago ajaganya olw'ebivudde mu kkooti

Added 29th November 2013

KKOOTI enkulu eyimirizza eby’okugoba Erias Lukwago ku bwa Loodi Meeya okutuusa ng’emaze okuwulira okusaba kwe yatutteyo ng’awakanya lipoota y’akakiiko ka Gavumenti akaamusalidde emisango egyamuwawaabirwa abamu ku bakansala ba KCCA.



Bya AHMED MUKIIBI NE ALICE NAMUTEBI

KKOOTI enkulu eyimirizza eby’okugoba Erias Lukwago ku bwa Loodi Meeya okutuusa ng’emaze okuwulira okusaba kwe yatutteyo ng’awakanya lipoota y’akakiiko ka Gavumenti akaamusalidde emisango egyamuwawaabirwa abamu ku bakansala ba KCCA.

Essanyu lyasaanikide Kkooti Enkulu esangibwa e Nakasero okumpi ne Fairway Hotel, Omulamuzi Yasin Nyanzi bwe yatyemudde nti , “ kkooti ematidde n’okusaba Lukwago kwe yawaddeyo nti singa lipoota ya Bamugemereire essibwa ku nkola,nga taweereddwa mukisa kumala kwerwanako bajja kuba bamuttattanye (Lukwago) nga takyayinza kudda ngulu mu mbeera yonna”.

Abaserikale nga bali bulindaala okutangira effujjo ku Kyadondo Road eggulo.

“Tewali muwendo gwa ssente kkooti eno gw’esobola kulagira Gavumenti okuliyirira Lukwago kubanga ofiisi y”Obwaloodi Meeya si kyabusuubuzi “, Omulamuzi Nyanzi bwe yategeezezza.

Katono Lukwago affe essanyu ng’omulamuzi Nyanzi awadde ensala eno mu lutuula lwa kkooti olwabadde mu ofiisi ye eyabadde ekubyeko obugule.

Gavumenti yakiikiriddwa Puliida w’omu ofiisi ya Ssaabawolereza wa Gavumenti, Martin Mwangutsya ate Lukwago yabaddewo ne Bannamateeka be abaasobye mu 10 okwabadde Peter Walubiri, Caleb Alaka, Abdul Katuntu, C. Katumba, Jude Mbabaali, Dalton Oponya, Julius Galisonga n’abalala.

Bannabyabufuzi ab’ebibiina ebivuganya Gavumenti okuli Maj. Gen Mugisha Muntu owa FDC, Ken Lukyamuzi owa CP, ababaka ba Palamenti Moses Kasibante,. Matthias Mpuuga, abakungu ba DP n’abantu baabulijjo beeyiye mu bungi mu kkooti kyokka ensala y’omulamuzi Nyanzi baagiwuliridde mu nkuubo za kizimbe kya kkooti.

Ebyokwerinda byabadde bya maanyi nnyo ng’abantu bakira baazibwa nnyo n’okukugirwa obutamala gatalaatala buli wamu. Poliisi yayungudde abaserikale abalwanyisa obujagalalo n’emmotoka za Poliisi ennene n’entono ezaasimbye wabweru wa kkooti.

Omulamuzi yatandise okuwa ensala ye ku ssaawa 5.15 nga yasoose kwemulugunya ku bbaluwa Ssaabawolrereza wa Gavumenti Peter Nnyombi gye yawandiikidde akulira Abalamuzi Yokoramu Bamwine n’agamba nti Nyombi yawabye mu ngeri gye yatapuseemu amateeka era ye teyamuyigudde ttama.

Ku kiragiro ekyasooka okufulumizibwa omumyuka w’omuwandiisi wa kkooti Fred Wanninda , Omulamuzi Nyanzi yagambye nti akkiriziganya n’ekiwandiiko ekyo kubanga ye yawa Wanninda obuyinza okuwa ekiragiro kubanga amateeka gakkiriza okuwa ekiragiro ng’ekyo singa kizuulibwa nti waliwo ekintu ekigenda okubaawo mu bwangu nga kijja kukosa oludda olumu.

Yagasseeko nti bwe yali awulira okusaba kwa Lukwago ku Mmande ku ssaawa 3.00 ez’oku makya, tewali yamutegeeza nti kanso ya KCCA yali atudde nga bakansala bamaze n’okuggyamu Lukwago obwesige.

Omulamuzi yagambye nti wadde etteeka lya KCCA liwa Minisita obuyinza okuyita kanso mu nnaku 14 ng’amaze okufuna lipoota, yalina (Minisita) okuyimiriza ku nteekateeka eno oluvannyuma lw’okufuna ekiragiro kya kkooti kubanga bandibadde n’ekyokwewolereza.

Yagambye nti yawuliriza bulungi okusaba kwa balooya ba Lukwago ku ky’okuyimiriza okussa mu nkola lipooya y’akakiiko ka Bamugemereire era yamatidde n’empoza yaabwe nti Lukwago ajja kukosebwa singa essibwa mu nkola n’alaba ng’asaanidde okusooka okuweebwa omukisa yeetaase, n’alagira Gavumenti okusasula Lukwago ssente z’asaasaanyizza.

Omukyala gwe baateeberezza okuba owa KCCA,ng’akuumibwa abapoliisi
obutiribiri mu kkooti eggulo (Lwakuna).

Puliida wa Gavumenti asabye
Puliida wa Gavumenti Mwangutsya yasabye omulamuzi okuwa Gavumenti olukusa okujulira ensala ye kubanga Gavumenti tematidde.

Yagambye nti amateeka gakkiriza oludda olutamatidde okujulira n’olwekyo omulamuzi akkirize bajulire.

Balooya ba Lukwago baagezezzaako okukisimbira ekkuuli nga bagamba nti Gavumenti terina nsonga kw’esinziira kujulira kyokka Omulamuzi Nyanzi yalagidde Mwangutysa okussa mu buwandiike okusaba kwe alyoke okutunulemu.

Lukwago ajaganya olw’ebivudde mu kkooti

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Kizito Lwanga (ku ddyo) Omusumba Kakooza ne Ssekamanya ( ku kkono) nga baganzika ekimuli ku kifaananyi  ky'omugenzi mu Lutikko e Lubaga.

Paapa akungubagidde Omusumb...

PAAPA Francis akungubagidde Bishop John Baptist Kaggwa n'amwogerako nga munnaddiini abadde tasangika. Paapa yagambye...

Tumukunde (ku ddyo) ng’agezaako okuyita ku baserikale. Oluvannyuma baamugaAnye okweyongerayo ewa Kyagulanyi.

Tumukunde bamugobye ewa Bob...

EGGULO ku Lwokutaano, Omubaka Robert Kyagulanyi Sentamu yabadde ategese okwogera eri eggwanga. Naye ng'ebyo tebinnabaawo,...

Titus Ssematimba eyateebedde Buddu (mu ddyo) ng’atwala omupiira ku muzannyi wa Bulemeezi.

Abaamasaza batolotoomye lwa...

Fayinolo y'Amasaza Gomba - Buddu Egyazannyiddwa ku semi; Busiro 0(4)-0(5) Gomba Bulemeezi 0-1 Buddu OBWAKABAKA...

Bobosi omuzannyi w'omupiira.

'Kye kiseera okwesiga Bobos...

"EKYASINZE okunsanyusa kwe kulaba nga mutabani wange Bobosi Byaruhanga ali ku katebe ka ttiimu y'eggwanga ey'abakulu....

Omusumba Joseph Tumusiime owa The heaven's gate Church of All Nations

Wuuno nnabbi eyalagula Trum...

Omusumba owa The heaven's gate Church of All Nationa avuddeyo n'akakasa okulagula kwe ku eyabadde omukulembeze...