
ABAJAASI b’eggye erikuuma Pulezidenti balongoosezza eddwaaliro ly’e Mulago ne bazzaamu n’amataala agabadde gaafa ng’egimu ku mikolo egikulembedde olunaku lw’amagye olwa Terehesita.
Mcdans Kamugira akulira enkolagana y’abantu n’amagye mu ggye erikuuma Pulezidenti yagambye nti balinga amazzi, bwe gabula mu bantu obulamu tebutambula n’olwekyo basazeewo okudda eri abantu nga bayonja Mulago kubanga lye kkung’aaniro ly’abalwadde abasinga obungi mu ggwanga.
Yannyonnyodde nti nga bagenda mu kujaguza olunaku lwabwe olwa Talehesita bayonjezza nga bali mu kibinja ky’abantu
300, bwe bamaliriza Mulago bagenda kuyonja ku mwalo gw’e Kasenyi mu Health Centre 3, badde e Ntebbe grade A nayo bagireke ng’etemagana.
UPDF balongoosezza Mulago ne bazzaamu n’amataala