TOP

Eyeebise awone ebbanja bamukutte

Added 23rd February 2014

OMUSAJJA eyeewola ssente za bbanka nadduka ku kyalo n’oluvannyuma ne yeebika nti afudde, aswadde banne bwe bamuguddeko ne bamukwasa poliisi y’e Kitebi.



Bya VIVIEN NAKITENDE

OMUSAJJA eyeewola ssente za bbanka nadduka ku kyalo n’oluvannyuma ne yeebika nti afudde, aswadde banne bwe bamuguddeko ne bamukwasa poliisi y’e Kitebi.

Paul  Mubiru amanyiddwa nga 'Kalisimaati' nga mukubi wa bifaananyi e Wankulukuku, ye yeewola 1,000,000/- mu kibiina kya Uganda Micro Finance wabula ne zimulema okusasula era mu October w'omwaka oguwedde n'adduka ku kyalo.

Banne ba Mubiru bwe beewola ssente mu kibiina kyabwe ekya 'Tukolerewamu' bagamba nti baamunoonya ne bamubulwa ne ssimu n'agiggyako kyokka yali yabasingira ebintu by'omu nju naye bwe baatuukayo nga tebiriimu.

Waayitawo akaseera, banne abalala ne bamumubika nti afiiridde e South Sudan ne batuuka ewa bazadde e Najjanankumbi nga bo tebakimanyiiko.

Omu ku baamunoonya eyategeerekeseeko erya Magala ye yamulaba ku mikolo gya Kabaka ng'alambula Bugerere ng'akuba bifaananyi kwe kutemya ku banne ne bamukwata oluvannyuma.

Mubiru yeetonze nga bw'agamba bamuleke anoonye ssente azisasule naye n'atataasibwa era n'atwaliba ku poliisi y'e Kitebi.

Eyeebise awone ebbanja bamukutte

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...