TOP

Nabirah by'akoze tetubiraba-Bakyala mu Kampala

Added 5th March 2014

ABANTU ab’enjawulo batandise okulangirira nga bwe bategeka okwesimbawo bavuganye ku bifo ebyenjawulo mu kulonda okuddako okwa 2016 bagamba nti abaliwo ekiseera kino tebakoze kimala.Bya HANNINGTON NKALUBO
ABANTU ab’enjawulo batandise okulangirira nga bwe bategeka okwesimbawo bavuganye ku bifo ebyenjawulo mu kulonda okuddako okwa 2016 bagamba nti abaliwo ekiseera kino tebakoze kimala.

Bukedde Online akuleetedde abamu ku baagala ekifo ky’omubaka wa Kampala omukazi mu Palamenti ekiseera kino ekirimu Nabirah Nagayi Ssempala.

Bamukubyemu ttooci ne bategeeza nti wadde ebimu abikoze naye ate waliwo by’atannakola.
Abamu ku bavuddeyo ne balangirira nti ekifo bakyagala kuliko eyali Minisita w’abavubuka n’abakyala e Mmengo Florence Nakiwala Kiyingi ne kansala ku lukiiko olufuga ekibuga Kampala Shifrah Lukwago.

Shifrah Lukwago (ku kkono)

NAKIWALA KIYINGI:

Yagambye nti yeewulira nti alina ekitone ekyenjawulo ekisukkulumye ku balala kubanga amaze emyaka ng’aweereza mu bifo eby’obuvunaanyizibwa bingi era buli ofiisi gy’atuddemu agivaamu ng’alina byakoze ebirabibwa.

”Nzize kuzzaamu Bannakampala ssanyu n’okubawa essuubi erigenda libaggwaamu. Abamu batandise n’okwevuma okulonda nti tekukyalina mugaso naye byonna bivudde ku bakulembeze abatayambye bantu,”Nakiwala bwe yagambye.

Yalaze omukululo gwalese mu ofiisi ez’enjawulo z’azze akulembera omuli okutandikawo omwoleso mu Buganda, okufunira abavubuka n’abakyala emirimu, okutumbula ebyobulamu mu masomero, okubangula abakyala ng’ayita mu bibiina byabwe .

Yagambye nti tazze kunoonya mulimu wabula kwongera kuweereza ggwanga lye.

SHIFRAH LUKWAGO;

Abadde mukulembeze mu lukiiko olufuga Kampala okumala emyaka 10 ate ye yali akubiriza enkiiko ku bukulembeze bw’eyali meeya Ntege Sebaggala.

Yagambye nti obukulembeze bw’omutendera gwa wansi abukoze era amanyi bulungi Bannakampala bye baagala.

Yagambye nti ayalaga ayambe eggwanga mu kukola amateeka amalungi n’okwongera eddoboozi lye ku kuteeseza eggwanga.

Agenda kusinga kussa maanyi ku kutema empenda okulwanyisa obwavu,okutumbula ebyobulamu, okukola enguudo n’okutumbula ebyenjigiriza.

Nnina bingi bye nkoledde abantu bange –Mubaka

NABIRAH Naggayi Ssempala yayogeddeko ne Bukedde ku ssimu n’agamba bwati;
Mu bbanga lye mmaze mu bukulembeze nsobodde okuyamba okusitula omutindo gw’abakyala n’abavubuka mu Kampala ssaako okwenyigira mu kukola amateeka agayamba eggwanga.

Nnyambye ebibiina by’abakyala ebyenjawulo mu butale ne mu zooni ez’enjawulo. Abamu mbazimbidde amayumba ne kaabuyonjo ez’olukale eziyambye okulwanyisa endwadde eziva ku bujama nga kkolera.

Kaabuyonjo y’olukale yokka esangibwa e Namuwongo mu Kanyogoga zooni ekozesebwa abantu abangi. Eno nze nagibazimbira ne ngibakwasa.

Nneenyigidde mu kulwanirira abantu abanyigirizibwa naddala abakolera mu butale era olumu okulwanirira abantu bange mu St. Balikuddembe kwandeetera obuzibu ne poliisi bwe yamukwatira mu katale.

Wabula abamu ku balonzi balabudde abakulembeze ne bagamba nti bangi bagidde mu kiti ky’okulwanirira abalonzi kyokka bwe batuuka mu ofiisi nga babeerabira.

Abamu ku basuubuzi bagambye nti ebyokulonda bibatamye kubanga tebabifunyeemu ate nga balonda abantu nga babasuubizza okubalwanirira naddala bwe kituuka ku mateeka amabi, emisolo emingi, okubasakira ku ssente basitule omutindo gwabwe.

Ssebaana by’agamba
MUNNA DP John Ssebaana Kizito (mu kifaananyi) akubye ttooci bantu bano.

NABIRAH;
Nabiraha Naggayi Ssempala takoze bubi naye omukulembeze yenna teyaalisusizza myaka 10 ng’akyali ku bukulembeze.

Ebintu byaba yasuubiza okukolera abantu bingi aba abikoze era sisuubira nti aba akyalina ebipya byagenda okukola okugyako okwekussa yekka.

NAKIWALA KIYINGI;
Oyo mujjukira nga bwe yali akyali minisita wa Kabaka yali muweereza mulungi era omukozi.

SHIFRAH LUKWAGO;
Muwala wange ono mujjukira bulungi ng’akyali kansala mu lukiiko lwange nga nze ndi meeya. Abantu baali bamwagala nnyo era ng’ateesa bulungi mu lukiiko lwange naye kiba kizibu nnyo okugeraageranya ekifo kya kansala ku lukiiko olufuga ekibuga ku palamenti y’eggwanga.

Nabirah by’akoze tetubiraba-Bakyala mu Kampala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...