TOP

Ppaaka enkadde emenyebwa mu July - KCCA

Added 16th April 2014

ENTEGEKA ya KCCA ey’okusengula takisi okuva ku nguudo n’okuzikyusa mu ppaaka ez’enjawulo mu kibuga zibadde zikyasatiza baddereeva, ate dayirekita wa Kampala Jennifer Musisi Ssemakula n’ayanjula entegeka empya ey’okuddaabiriza ppaaka enkadde ng’abagikoleramu basooka kusengulwa.



Bya Hannington Nkalubo ne chris Tebandeke

ENTEGEKA ya KCCA ey’okusengula takisi okuva ku nguudo n’okuzikyusa mu ppaaka ez’enjawulo mu kibuga zibadde zikyasatiza baddereeva, ate dayirekita wa Kampala Jennifer Musisi Ssemakula n’ayanjula entegeka empya ey’okuddaabiriza ppaaka enkadde ng’abagikoleramu basooka kusengulwa.

Ebula ebbanga lya myezi ebiri entegeka eno etandikibwe nga bonna ababadde bagikoleramu omuli baddereeva, bannannyini maduuka, abatembeeyi, abatunda ebyokulya nokunywa ssaako abatundirawo ssente n’abalina ebizimbe ebigyetoolodde bakyasobeddwa.

Ababadde bagikoleramu bategeezezza nti bangi tebannaba kutegeezebwa mu butongole kigenda kukolebwa ky’ennyini kubanga singa babasengula ate nga takisi ezimu zaakaleetebwa mu paaka eno bigenda kuba bitya?

Akalippagano nga kakutte ku nguudo ezigenda mu USAFI.

KCCA EYOGEDDE

Dayirekita wa Kampala Jennifer Musisi Ssemakula bwe yabadde mu kakiiko ka Palamenti yategeezezza nti buli ekyetaagisa okuddaabiriza ppaaka enkadde okugizimba kyafunise era mu July omulimu gugenda kutandika.

Oluvannyuma omwogezi w’ekitongole kino, Peter Kauju yalambuludde entegeka eno n’agamba nti bagenda kuzimba ppaaka ey’omulembe nga ya kalina.

“Twagala ppaaka egenda okuva ku myaliiro ebiri n’okwambuka waggulu. Buli mmotoka eva ku luguudo olutuuka ku ppaaka enkadde ng’esobola okuyingira oba okufuluma.

Poliisi ng’ekutte abamu ku baddereeva
abagambibwa okukuma mu bannaabwe
omuliro beekalakaase.

Eziva ku luguudo lwa Market Street e Nakasero nga ziyingira butereevu, ezikozesa Ben Kiwanuka nga ziyingira ne Luwum Street nazo nga zirina mwaliiro gwazo,” Kaujju bwe yagambye.

Yagambye nti byonna nga tebinnaba kukolebwa, KCCA ng’ekitongole ekirumirirwa ate nga kiweereza abantu kiteekwa okuttaanya buli kimu naddala takisi gye zigenda okusengukira.

“Entegeka zikyakolebwa kubanga wadde ssente tuzirina naye tetunnaba kumaliriza bya ssente wadde okufuna kkampuni ezigenda okukola,” Kaujju bwe yagambye.

Yagambye nti takisi ezibadde zikoleramu bagenda kuzifunira ebifo era nti batandikidde ku ppaaka ya USAFI ezimu gye zitwaliddwa.

Ku bagagga abaagula poloti okwetooloola paaka enkadde yagambye nti poloti zonna KCCA yazeddiza okuggyako emu eri mu nsonda ya Mini Price.

Yagambye nti abagagga abaagula poloti ku ppaaka eno, baagenda mu kkooti ne bawangulwa era ettaka ne liddira Gavumenti (KCCA).

Abamu ku bantu abagenda mu ppaaka ya USAFI.

“Tugenda kuddaabiriza ppaaka yaffe nga tewali atukuba ku mukono era abasaabaze n’abantu ab’enjawulo balindirire omulimu omulungi ogugenda okubawa essanyu,” Kaujju bwe yagasseeko.

Yagambye nti kino tekigenda kukosa ntegeka za kugoba takisi ku nguudo n’okuzikyuusa mu paaka ez’enjawulo eziriwo.

ABAGAGGA ABAAGULA POLOTI BOOGEDDE

Wabula bbo abaagula poloti okwetooloola ppaaka enkadde balabudde nti KCCA tegeza n’esaalimbira ku ttaka lyabwe.

“Baatuguza ne tubasasula bulungi era ne batuwa n’ebyapa era tubirina naye ne balemwa okutukwasa ettaka lyaffe nga tekuli bantu ng’endagaano bw’egamba. Kati bagamba batya nti ate baalyeddiza?,’’ omu ku bagagagga Epmark Kagoro bwe yeebuuzizza.

Yalabudde nti emisango giri mu kkooti kyokka yeewuunya KCCA okugenda ng’ebuzaabuza abantu nti yatuwangula.

Omusango gw’eyogerako gwagobebwa nti guwaabiddwa mu kkooti ya wansi omulamuzi na’awabula nti tugutwale mu kkooti eya waggulu ate n’abalala ne tuwaaba n’emisango emirala kati kcca evaayo etya n’egamba nti ezimba mu poloti zaffe.

“KCCA ky’erina okukola kwe kutukwasa ettaka lyaffe tutandike okuzimba okusinziira ku pulaani z’eyagala.

Agamu ku maduuka agali ku ppaaka enkadde.

KACITA

Omwogezi w’ekibiina kya KACITA ekigatta abasuubuzi, Issa Ssekito yagambye nti bawagira KCCA okubategekera ku kibuga naddala okuddaabiriza ppaaka naye babe beegendereza nnyo nga bakikola.

“KCCA byonna by’ekola ebikolera bantu era nga tennaba kutandika kukissa mu nkola eteekwa okunnyonnyola abakwatibwaako ne bategeera. ” Ssekito bwe yagambye.

Yategeezezza nti balindiridde n’essanyu okulaba nga ppaaka eddaabiriziddwa naye tebawagira kya kugisengula.

Abagikoleramu nkimanyi nabo beesunga ppaaka kuddaabirizibwa naye si kugobwa. Eky’okubasengula KCCA tesaana kukikola yokka.

“Ffe Bannakampala tuteekwa okukulembera entegeka y’okutereeza ekibuga kyaffe tutegeezeddwa naye byonna KCCA ebikola yokka ekivaako abantu okugiraba ng’ebanyigiriza,” Ssekito bwe yamalirizza.

KCCA yalangiridde nti aba bbaasi zino balina endagaano ebakkiriza okukolera ku nguudo ya mwaka mulamba ate nga ekyaliko era bo enkyukakyuka z’entambula y’ebidduka ezikolebwa kati tezibakwatako.
Yagambye nti tebannaba kufuna lipooti yonna eraga nti bamenye endagaano.

ABA BBAASI ZA AWAKULA ENNUME BOOGEDDE

Omwogezi w’Awakula Ennume, Charles Henry Ssentongo yategeezezza nti bo wadde bakola bulungi era bongedde okuleeta bbaasi endala eziyambe abasaabaze, buli ekikwata ku takisi nabo kibanyiga.

“Tetumanyi nkyukakyuka bwe zigenda kumalirizibwa kubanga gavumenti tetuyambye. KCCA yalangirira dda entegeka z’okuleeta bbaasi mu Kampala kati ppaaka gy’egenda okuzimba egenda kuba yaaki?

Aba takisi bagenderere tebeeyibaala kubanga omulembe gwa bbaasi naye ekyennaku abagagga abagenda okuzireeta bagenda kutwavuwaza,” Ssentongo bwe yagambye.

Yategeezezza nti entambula mu Kampala eyolekedde okusaanawo mu bantu ba mufuna mpola.

Enkulaakulana tugisiima naye ekibi tetambula n’abantu abali mu mulimu. Aba takisi bennyini be baalibadde bayambibwa ne baleeta bbaasi n’okukulaakulanya ppaaka ya takisi naye byonna gavumenti tubitunuddemu.

Nsaba gavumenti eyambe abantu baayo nabo bakulaakulane n’entegeka z’okuzimba ppaaka naye si kubagoba mu mulimu.

ABASUUBUZI ABAKOLERAWO

Bannannyini maduuka, wooteeri, aba kaabuyonjo, n’abalina saluuni okwetooloola paaka enkadde basattira.

Ssentebe w’abasuubuzi bano Nelson Nuwagaba yagambye nti entegeka za KCCA zikyaliko ebibuuzo bingi bye bateekeddwa okusooka okubannyonnyola nga omulimu tegunnaba kutandika.

Yagambye nti tebalina kye bamanyi ate ng’entegeka zonna zaalibadde zitandikidde ku bo.

“Ekitabula abantu tekiba kinene, kukola bintu ng’abakwatibwako bennyini tebalina kye bamanyi.
Singa mu July okuddaabiriza ppaaka kussibwa mu nkola nga bwe tuwulira nti bagenda kuzimba ppaaka ey’omulembe nga ya myaliiro mingi, abasuubuzi wano tugenda kukolera wa?

Ffenna abakolera wano tusoba mu 500. Ffe abamaze ku ttaka emyaka egisoba mu 20 tugenda kutunulwamu tutya? Tusaba bakkirize ekitundu kyaffe tukyekulaakulanyize ate tukolaganire wamu nabo.

Ensonga y’abagagga abaagula poloti mu ppaaka wano abamu bagamba nti mu mateeka ettaka likyali lyabwe, zino babimaliriza batya?

Ye takisi ezibadde zikolerawo singa zonna zisengulwa zigenda kukolera wa nga siteegi emu yokka ey’e Ntebe ejjuzza USAFI?,” bye bimu ku bibuuzo bye yeebuuzizza.

Nuwagaba yagambye nti ebibuuzo bikyali bingi ebyetaaga okusooka okuddibwamu nga okuzimba tekunnaba kutandika.

Paaka enkadde yali eguliddwa kkampuni z’abagagga 11 nga kuliko Umar Mandela owa City Oil , Dick Kizito owa Kizito Towers, Epmark Kagoro, owa Giant Eagle , Kanaaba Agencies n’endala.

PAAKA ZA TAKISI MU KAMPALA

KCCA erina ppaaka bbiri mu kibuga nga kuliko empya n’enkadde. Ppaaka ya takisi empya yajjula dda nga esimbamu wakati wa mmotoka 300 ne 400.

Buli siteegi mu ppaaka eno esimbako mmotoka ezirinda okutikka nnya, endala ne zirindira ebweru era muno baddereeva bagamba nti tebasobola kwongeramu mmotoka ndala nga ppaaka enkadde eddaabirizibwa.

Ppaaka ndala mu Kampala za bwannannyini. Zino ziri nnya ezaatongozebwa KCCA okutikkiramu abasaabaze.
Ku zino kuliko eya Namayiba, eya Kisenyi Taxi Park , eya Namirembe Bust Terminal ku luguudo lwa Namirembe Road ne USAFI ekyali empya.

Ppaaka zino zikyalimu ebifo era eya Namayiba ekiseera kino tekozesebwa. Nannyini yo yagimaliriza ku mutindo nga yonna yagikozesa bujjo [ pavers] . Ate eya Namirembe Bus Terminal nayo njereere ate nga nayo yaggwa dda.

Endala ey’omu Kisenyi ekitundu ekisinga obunene kikalu temuli mmotoka. Abakulira akakiiko akafuga takisi mu Kampala (TAPSCOM) baategeezezza nti paaka zonna bagenda kuziteekamu mmotoka.

Ye omwogezi wa KCCA, Peter Kauju yagambye nti ppaaka nnya mu Kampala baazitongoza era zikkirizibwa okutikkiramu mmotoka.

Omu ku bakulira TAPSCOM ,Kalid Bbaale yagambye nti wiiki eno buli takisi emanyi nti ekolera ku siteegi eziteekeddwa okubeera mu Namayiba oba Kisenyi takisi ppaaka baziragidde zisenguke zikolere eyo.

PAAKA YA USAFI

Okwekalakaasa kwa baddereeva okubadde mu ppaaka eno wiiki ewedde ne kusitula n’abanene omuli n’omumyuka wa pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi kwawedde ng’ebintu bingi bitereezeddwa.

Nannyini yo Omar Nasooro Ssekamate yagyongeddeko emiryango emirala egifulumya mmotoka ebiri. Mmotoka ezibadde zeekwata mu kalippagano kati zitambula bulungi. Ppaaka bagitaddemu amataala agakozesa amaanyi g’enjuba.

Abaserikale bongeddwaamu era n’olukiiko olufuga takisi (TAPSCOM) lwongedde okugirabirira.
Wabula wadde embeera egenze etereera naye abamu ku basaabaze bagamba nti KCCA ekyalina kinene ky’eteekwa okukola.

Omu ku basaabaze, Dennis Magulu asula e Katwe Kinyolo yagambye nti olugendo lunene ate n’amataala gali mu ppaaka munda naye ku nguudo matono.

“Tutambula ne tuyita ku biwologoma ne ku ssaawa ya Kwiini naye ffenna nga tewali amanyi munne. Poliisi eyongere okunyweza ebyokwerinda kubanga tutambulira mu bulabe ate nga ne wiiki ewedde awo battirawo abantu babiri, ekikakasa nti ebyokwerinda tebinnanywera bulungi” Magulu bwe yagambye.

Ate ddereeva Farouk Minaawa yagambye nti ebizibu bya ppaaka ya USAFI bikyaliwo. “Ppaaka nfunda nnyo nga singa mmotoka endala zitwalibwayo embeera egenda kuba mbi ddala.

POLIISI

AKULIRA poliisi ya CPS, Dennis Namuwoza yagambye nti abasaabaze babe bagumu.

“Oluguudo lwonna tulutaddeko abaserikale okuva ku ppaaka enkadde, ku Shoprite, ku Ssaawa ya Kwiiki waliwo ne ka poliisi kaffe okutuuka ku lugenda e Katwe, ne mu katale munda ne mu ppaaka.

Abasaabaze batambule bulungi kubanga ebyokwerinda ffe tubinywezezza.

Namuwoza yalabudde mmotoka okugoberera entegeka ya KCCA gye yagiwadde nga zitikka. “Takisi eteekwa kutikkira mu paaka KCCA gy’egitutte naye si kuwakanya era ffe tugenda kweyongera okubasomesa buli lunaku,” bwe yalabudde.

Ppaaka enkadde emenyebwa mu July - KCCA

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...

Minisita Namisango Kamya ng’atuuse mu kkanisa awakumiddwa olumbe.

Beti Kamya atuusizza obubak...

Minisita w'ebyettaka Beti Olive Namisango Kamya agenze ku kkanisa ya Abizzaayo e Kawaala n'atuusa obubaka bwa gavumenti...

 Ekkanisa ya Paasita Yiga esangibwa e Kawaala.

Poliisi eremesezza aba fami...

POLIISI eremesezza aba ffamire ya Pasita Augustine Yiga Abizzaayo okusuza omulambo gwe ku kkanisa eya Christian...

Paasita Kayanja ng'ayogerera mu lumbe lwa Yiga. Ku kkono ye mukazi we

Kayanja akungubagidde Yiga ...

Kayanja akubirizza abagoberezi ba Yiga obutageezaako kutangatanga wabula banywere n'omusumba Andrew Jengo okusobola...