TOP

KCCA egaziyizza pulaani y'okutereeza entambula

Added 11th June 2014

ABASAABAZE n’abamu ku ba takisi basanyukidde entegeka za KCCA ez’okuzimba ppaaka endala ebbali w’ekibuga n’okuggyawo ezimu ki siteegi mu bifo eby’enjawulo.



Bya HANNINGTON NKALUBO ne JOSEPHAT SSEGUYA
ABASAABAZE n’abamu ku ba takisi basanyukidde entegeka za KCCA ez’okuzimba ppaaka endala ebbali w’ekibuga n’okuggyawo ezimu ki siteegi mu bifo eby’enjawulo.

Bagamba ntu kino kigenda kuggyawo omugotteko gw’ebidduka n’okubanguyiza mu nkola y’emirimu gyabwen’okukendeeza obubenje ku nguudo.

Mu zimu ku ntegeka empya mwe muli okuggyawo ppaaka y’e Nakawa ezimbibwe e Banda, okuzimba ppaaka eyeetongodde e Bwaise n’okuddaabiriza ey’e Nateete n’okulongoosa enkadde etuukane n’omutindo.

KCCA era tekyagala takisi zisimba ku siteegi ez’ekimpatiira omuli mu maaso g’amaduuka, mu makoona ne ku nguudo ez’enjawulo zonna zirina kuyingira mu ppaaka.

Kyokka abamu ku batuuze mu bifo awagenda okuzimbwa ppaaka zino basattira nti tebannaba kusasulwa era te bagenda kukkuriza pulojeti ya KCCA kutamabula.

Paaka y’e Nakawa egenda okuggyibwawo nga bw’efaanana

E BANDA
KCCA egamba nti ppaaka y’e Nakawa ebadde nfunda ate nga eri ku kkubo nnyo nti singa wabeerawo ekizibu kyonna ekivaako akabenje bayinza okukosebwa.

Kyokka abatuuze n’abakulembeze abeetolodde ekibangirizi ekitegekebwa okufuulibwa ppaaka e Banda bayomba nti ebintu babiwulira waggulu ate nga ppaaka ebakwatako butereevu.

Bagamba nti bawulira amayumba gaabwe gagenda kumenyebwa kyokka tewali nteeseganya zonna ku kubaliyirira era nti bo si beetegefu kukkiriza gamenyebwe.

Era beemulugunya nti ekibangirizi ky’ettaka ekitegekebwa kya bwannannyini ate tekituuka ku kkubo.
Bagamba nti abaawa amagezi KCCA nti ekolewo ppaaka tebaasooka kutunuulira nsonga zikwata ku mayumba ga batuuze.

KCCA baagirimba nti balina ettaka kyokka ng’ekitundu ekinene ku kkubo mayumba g’abantu era ne bwe kiba kutema luguudo bateekwa kusengula abatuuze ekitali kyangu.

Ekitundu ky’ettaka okugenda okuzimbibwa ppaaka e Banda kiriraanye olutobazzi lw’e Banda emabega wa Elizabeth Hotel.

Olutobazzi luno NEMA yalugaana okuluyiwamu ettaka era gye buvuddeko KCCA yalabula n’abamu ku bagagga abaali bagezaako okuluzimbamu nti tebakkirizibwa.

Mu kiseera kino ekitundu kino kijjuzibwaamu ettaka. Abamu ku batuuze abaludde mu kifo kino bagamba okukituukamu oteekwa okumenya agamu ku mayumba g’abatuuze singa oba oyagadde kukola ppaaka etuuka ku luguudo lwa Jinja Road.

Ssentebe w’ekyalo kino ekiyitibwa Banda II omusangibwa ekibangirizi kino Muky. Fatuma Kitimbo yagambye nti “Tewali ngeri gy’osobola kukola ppaaka wano nga tokosezza mayumba g’abatuuze.

Ekisooka ekibangirizi tekisemberedde luguudo. Okutuuka ku luguudo osooka kumenya mayumba gaffe ate nga wadde baatubalirira naye batugamba nti eby’okutusasula batuyamba buyambi. Kati ebyo ani asobola okubikkiriza” bwe yeebuuzizza.

Yagambye nti singa ppaaka ezimbibwa amayumba agasoba mu 200 ge gagenda okumenyebwa.

Abalala bagamba nti bwekiba kukola paaka mu kitundu kyaabwe, basooke baggule oluguudo oluyita wansi wa MOGAS ne luggukira mu kibangirizi kino nga luyita mu kitoogo okutuuka ku sitoowa ennene olwo bakozese akaguudo akatuuka ku sitoowa eziriwo.

Ate ba dereeva mu paaka y’eNakawa egenda okugibwaawo bagamba nti KCCA tekoze kimala mu ntegeka z’okusengula paaka yaabwe.

“Eno ppaaka eri ku luguudo ate eri wakati, abava e Luzira Bugoloobi ne Ntinda beegatira wano ate bagamba bagitwale e Banda mu Kisenyi, wagenda kuba watya” Didas Kamukama bwe yeebuuzizza.

N’awagirwa banne okuli; Shafik Lubega ne James Lukwago abaagambye nti bawagira entegeka kyokka baagala basengulwe nga byonna biwedde si kubatwala mu bifo ebikaayanirwa.

Kyokka abamu ku basaabaze n’abasuubuzi abakolera mu Banda n’abasangiddwa mu ppaaka y’e Nakawa basanyukidde entegeka z’okuzimba ppaaka ey’omulembe e Banda.

Bagamba nti ekifo kigenda kukulaakulana ate tufune abaguzi. Abatuuze singa bava mu nkaayana eziriwo ne bakiriziganya ne KCCA ebintu bigenda kutereera bulungi.

Wabula kansala Fredrick Kagga abatuuze gwe baalumirizza okukolagana n’ababagoba mu mayumba gaabwe yategeezezza nti ye ebintu abiyingiramu kuyamba batuuze.

“Ekisooka tewali mutuuze agenda kugobwa nga tasasuddwa kyokka buli omu agenda kusasulwa ekyo kye yassa ku ttaka kubanga tewali alina ttaka awo,” Kagga bwe yagambye.

Ate kansala ku lukiiko olufuga Kampala Apollo Mugume yagambye nti takisi nnungi naye tasobola kukiriza batuuze kunyigirizibwa.

Ppaaka ye Bwaise eri ku mabbali g’ekkuubo nga bw’efaanana.

KCCA
Ye Omwogezi wa KCCA Peter Kaujju yategeezezza nti ppaaka ezigenda okuzimbibwa mu bitundu ebyenjawulo okuli Nateete, Bwaise ne Banda, bakkiriziganyizza ne bannannyini ttaka kwe zigenda okukolebwa.

“KCCA tetugenda kugula ttaka wabula tugenda kukolaganira wamu ne bannannyini ttaka tuzimbe ppaaka zino, kikendeeze ku mwegotteko gw’ebiduka mu Kampala,” Kaujju bwe yagambye.

Yagasseeko nti ebigendererwa bya kuyamba basaabaze n’abalina takisi okulaba nga byanguyirwa ebyentambula.

BWAISE
BADEREEVA ba takisi e Bwaise n’abakwatibwako omuli bakondakita mu takisi eziva mu bitundu ebyo, balaajanidde KCCA eyongezzeeyo nsalessale ow’ennaku 90 ze baabawanga bagamba nti abulako ennaku 30 babagobe mu ppaaka yaabwe wabula ekifo we badda kikyababuze.

Baddereeva bano abaasangiddwa mu ppaaka yaabwe ku kkubo e Bwaise ku Lwomukaaga baategeezezza nti, KCCA yabakyalira ku ggombolola ne bateesa ku ky’okubasengula wabula
bamaze emyezi ebiri nga banoonya ekifo we bayinza okusengusiza ppaaka kibabuze.

“N’ekifo ekimu kyokka kye twazuula wano okumpi, bannanyinikyo baagaana nti bagenda kuzimbawo akeedi.

Twabalemerako naye era bwe baaba ng’abakkiriza ate nga batugamba nti bayinza okukikola mu myaka ng’etaano egijja,” bwatyo ssentebe wa siteegi y’e Luweero John Oleba bwe yategeezezza Bukedde.

Wabula ensonda mu kitundu kino ezitaayagadde kwatuukirizibwa mannya, zaategeezezza nti buli gwe batuukirira okubawa ekifo atya nti KCCA ne Gavumenti bayinza okuba nga bali mu lukwe lwa kutwala ttaka lyabwe nga beerimbika mu kussaawo ppaaka.

Yagasseeko nti KCCA yabalabula okusengula ppaaka eno nti yassibwa ku kkubo ekyonoona ‘pevumenti’, okuleeta akalippagano k’ebidduka n’ensonga endala kyokka baabaleka awo bo beenoonyeze ettaka ekintu ekibakaluubiridde nga kati beetaaga kuyambibwa.

Abamu ku bakolera mu ppaaka eno bakkirizza nti kituufu erina okusengulwa naye olw’okuba nabo bantu banoonya ekikumi okubezaawo ‘famire’ zaabwe, KCCA yandisoose kukakasa nti, balina we bagenda okudda.

Omusajja ng’alaga ekibangirizi we baagala okugula bateeke ppaaka y’e Bwaise.

NATEETE
Ate bo abasaabaze abayita mu ppaaka y’e Nateete, baddereeva n’abakulira ppaaka eno, beewuunya ekyatuuka ku bakwatibwako olw’okubalekera ppaaka eri ng’ebikata bya lumonde.

Kyokka abakulembeze mu ppaaka eno nabo banenya KCCA bwe baategeezezza nti baatuula ne nnannyini ttaka lino, Mw. Louis Ntale n’abategeeza nga KCCA bwe yamulagira y’aba agyeddaabiriza kyokka ate tekyamuwa ssente yonna.

Wano omu ku bakulira ppaaka eno ne siteegi y’e Mityana, Peter Kiteera we yasinzidde okugamba nti, okuva KCCA lwe yamala okukola ppaaka empya, yaggyawo ssente zonna ze yali esasula bannanyini ppaaka ez’enjawulo omuli n’eye Nateete kyokka ne bewuunya oba nga mmotoka zonna zinaggwera mu ppaaka empya eri e Kampala ate nga nayo bali mu kukendeeza takisi zaamwo bateekemu bbaasi!

Agamba nti, KCCA esolooza ssente ezisukka 100,000/- ku buli takisi omwezi kyokka n’eremwa okukola ppaaka yaabwe ate ne balagira nnanyini ttaka okugikola nga tebamusasula so nga ne takisi tezimusasula!

“Enkuba bw’etonnya, ppaaka eno eba ng’enzigale kubanga abasaabaze tebaagala kulinnya mu bisooto n’emmotoka zennyini tezaagala kujjayo olw’okuddugaliramu. Kiba nga kidiba,” Kiteera bw’agamba.

Embeera ppaaka eno mw’eri eyungula ezziga kubanga ebinnya bingi kyokka enkuba bw’etonnya ne bijjula amazzi ate bw’ekya ebisooto ne bigisalako ng’enjogera y’ennaku zino.

Abantu abalala batya nt, ppaaka eno bw’enaaba y’etwala mnotoka zonna eziva ebuvanjuba, ejja kuba nfunda.

KCCA ebaanukudde

Omwogezi wa KCCA, Peter Kauju ategeezezza nti okukola pulaani y’okuzza obujja entambula mu Kampala, tekigenda kukosa muntu n’omu kubanga bagenderera kukulaakulanya kibuga si kulemesa bantu.

Ppaaka y’e Nateete nga bw’efaanana kati.

Kaujju yannyonnyodde bw’ati ku buli kutya okuli mu kitundu gye bagenda okutwala ppaaka za takisi;

Nateete
Bwe twali tutandika ppaaka empya, tulina ebifo ebyenjawulo gye twatwala emmotoka zibeereyo era nga tulina okubasasula era n’e ppaaka y’e Nateete bwe kyali naye bwe yaggwa ne biggwawo.

Naye ffe tujja kusigala nga tukola ogwaffe nga bwe tulina okukola okulaakulanya ppaaka ezo. Tetuyinza kulekerera b’e Nateete ku kulaakulanya ppaaka.

Bwaise
Mu kibuga tulina pulaani kwe tutambuliza emirimu gyaffe.

Tutuula ne be kikwatako ne tukkaanya ab’e Bwaise tujja kukolagana nabo okulaba nga tetutaataaganya mirimu gyabwe bwe gunaaba ng’omulimu guwedde, tunaalaba ekiddirira naye nga tetusuubira kubagoba nga tebalina gye balaga.

Ppaaka enkadde
Tuli mu kupima kati mpenda za ttaka lyaffe twawuleko eryo erikaayanirwa naye ng’omulimu gw’okuzimba ppaaka eya kalian gutandika essaawa yonna.

 

KCCA egaziyizza pulaani y’okutereeza entambula

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mutuulakungo alaze bwe yate...

OMUSAMIZE Mutuulakungo eyatendeka Augustine Yiga Abizzaayo okutetenkanya ekibuga alaze engeri gye yamubangulamu...

Balumbye Mayinja okuyingiza...

Abantu abenjawulo balumbye Ronald Mayinja okuyimba ng’awaana Museveni kyokka n’ayingizaamu Bobi Wine mu ngeri gye...

Musinga

Poliisi eraze enguudo ezige...

PULOGULAMU ya poliisi gye yafulumizza okulungamya eby’entambula ku luguudo lwa Jinja Road ng’abeegwanyiza obwapulezidenti...

Abakungubazi nga bayingira mu kkanisa e Kawaala.

Bazirise nga batuusa omulam...

EBIWOOBE n’emiranga byabuutikidde ekkanisa ya Revival Church e Kawaala ng’omulambo gw’abadde agisumba, Pasita Augustine...

Kabaaya ne ofiisa wa poliis...

POLIISI ng’eri wamu n’ekitongole ekirwanyisa obuli bw’enguzi mu maka g’obwapulezidenti ekikulirwa Lt. Col. Edith...