TOP

Abagagga ba Kampala beesomye

Added 7th January 2015

OKUZIMBA okutandise mu poloti ezimu ezikola ppaaka ya takisi enkadde kusiikudde buto emitima gya baddereeva n'abasuubuzi abakolerawo ne bategeeza nti emirimu gyabwe giri mu lusuubo olwa KCCA okusirika nga babakuba ebbaati.

Bya HANNINGTON NKALUBO


OKUZIMBA okutandise mu poloti ezimu ezikola ppaaka ya takisi enkadde kusiikudde buto emitima gya baddereeva n'abasuubuzi abakolerawo ne bategeeza nti emirimu gyabwe giri mu lusuubo olwa KCCA okusirika nga babakuba ebbaati.

“KCCA yasooka kugoba basuubuzi ba buyumba obuli ku ppaaka eno, ekifo kisigale nga kikalu era ekiseera kyonna batumenya olwo abagagga abaagula ettaka eribakwase bulungi nga tekuli wadde awakanya,” bwe baagambye.

Omu ku bagagga, Abdul Kasai nga ye nnannyini kkampuni ya Kanaaba Agencies Ltd yasoose okukkirizibwa okuzimba era ye yakkiriziganyizza n'abapangisa ababadde bakolera mu madduka ge ne basenguka bulungi nga tewali kwemulugunya.

Akulira abakozi mu kkampuni ya Kanaaba Agencies Ltd, Francis Kimera yagambye nti ettaka lye teririna we likoseza ppaaka eno wadde entambula ya mmotoka ng'abamu bwe bayinza okulowooza.

Yagambye nti poloti eno etunudde mu Bank of Africa ku kizimbe kya Mukwano, ebaddemu kizimbe nga kiriko amaduuka ageetongodde era KCCA ezze emukkiriza okugatereeza.

‘Ku mulundi guno KCCA yanzikirizza okumenyawo obuduuka n'ebiyumba ebibaddewo ebikadde nsobole okutereeza nga nteekawo obuduuka obw'omulembe. Sirina musuubuzi gwe nagobye nga menya. Twakkiriziganyizza ffenna nti nsooke ntereeze oluvannyuma bakomewo bakole" Kimera bwe yagambye.

N'ategeeza nti ettaka lye terikyaliko nkaayana era talina musango gwonna mu kkooti nga bwe kiri ku poloti endala.

"KCCA yatuwadde ebbaluwa etukkiriza okumenya n'okutereeza era omulimu twagutandise dda. Ba ddereeva babeere bagumu ppaaka esigaddewo tewali agenda kugisengula ate n'abasuubuzi bagenda kudda bakole nga tumalirizza okuzimba," Kimera bwe yagambye.

Gye buvuddeko Abdul Kasai wano yazimbawo obuyumba, abasuubuzi ne babupangisa era wadde poloti egiddiridde etuuka ku kayumba ka poliisi nayo yiye, teyagikubyeeko bbaati.

Ezimu ku takisi ezibadde zikolera mu luggya lwa poloti eno nga zigenda e Nateete n’e Busaabala kati ezimu zitikkira mu luguudo ku bbaati eryakubiddwa.

Abamu ku bakolera ku kibaati. Bagamba nti bamativu kubanga omugagga yakkiriziganya nabo.

ABAGAGGA ABALALA;

ABAGAGGA abalala 11 abaagula poloti ku ppaaka eno batabuse nti nabo bagenda kukuba bbaati kubanga era ba looya baabwe aba Kibuuka Musoke and Co. Advocates baabalagidde bawandiikire KCCA nga bagitegeeza nti ekiseera kyonna nabo bakuba ebbaati.

Bagamba nti baagulira wamu ettaka ne munnaabwe owa Kanaaba Agencies Ltd Haji Kasai era beegatta bonna mu kibiina kye baatandikawo ekya Old Park Developers Association Ltd kyokka bo KCCA ekyabagaanyi okuzimba.

Omwogezi w'ekibiina kino ku lw'abagagga bonna 11, Patrick Muheirwoha owa SHUMUK yagambye nti emisango gye balina mu kkooti ne KCCA bagenda kugiggyayo bakkiriziganye okuzimba kutandike.

Yagambye nti ekibadde kibasibye ye KCCA okugaana okubakwasa ettaka lyabwe nga tekuli muntu naye singa bonna ebaggyako nga bwe yalagira abalina obuyumba bwonna, tewagenda kubeerawo kukaayana" Muheirwoha bwe yagambye.
N'ategeeza nti KCCA terina nsonga erimu ggumba gye yeekwasa kubatwalako ttaka lyabwe.

Yalanga poloti zonna 13 ze yali etunda ng’eyita abalina obusobozi ne tutwala okusaba kwaffe. Yasaba ssente ze yali eyagala okutunda ne tuziwa. Ensonga zaatwalibwa mu lukiiko lwa KCC olwali lufuga ekibuga ne lugiyisa.

Abamu baayagala okwemulugunya ensonga ne bazitwaala mu palamenti, ewa minisita wa Gavumenti ez'ebitundu n'ewa Pulezidenti Museveni era ne bassaawo n'akakiiko kanoonyereze ne kakola lipoota nga kasemba batukwase ettaka," Muheirwoha bwe yagambye.

Yalaze lipoota eyakolebwa abakugu abaaleetebwa okupima ettaka n'okugatta pulaani z'abagagga bonna 13 abaagula ppaaka eno nga KCC bwe yabalagira nti bazimbe ebizimbe nga bifaanagana byonna era nti ekyali kisigadde kubakwasa ttaka naye KCCA ekyagaanyi.

Omwogezi wa KCCA Pater Kauju

Yagambye nti wadde KCCA eneebuzaabuza eryo ettaka lyabwe lya bwannannyini.
"Tulina empapula zonna eziraga obuguzi okutandikira ku birango nga KCCA etuyita tugule. Omusango oguli mu kkooti gujja kugwa era gugenda kuvaayo nga gusaliddwa mu mazima singa okukkaanya kugaana," Muheirwoha bwe yagasseeko.

N'ategeeza nti pulaani zaabwe zagwa dda kubanga zonna zitambulira wamu.
"Twalagibwa kuzimba bizimbe bifaanagana okwetoloola ppaaka era ne tufuna kkampuni z'abakugu okugatta pulaani ya buli kkampuni kati tulindiridde KCCA naye ng’ekiseera kyonna tukuba ebbaati.
KCCA;

Omwogezi wa KCCA Peter Kaujju yagambye nti okuggyako kkampuni emu eya Kanaaba Agencies gyebakkirizza okuzimba endala tezinnakkirizibwa.

Mu kiwandiiko KCCA kye yatwala mu kkooti okugoba abagagga ku ttaka lyayo, yategeeza nti ettaka baalifuna mu bukyamu nga baligula ate ne liizi zaabwe zaggwaako ettaka ne liddira nnannyini lyo KCCA era eby’okulizimbako babiveeko.
Kaujju yagambye nti bakola ntegeka kutandika kuddaabiriza ppaaka eno nga batandikira mu kitundu ekitaliiko nkaayana.
Yagambye nti balina pulojekiti ennene ey'okuzimba ppaaka eno nga ya mulembe.

Twagala kuzimba ppaaka eno nga ya kalina, wansi nga takisi ate waggulu wasimbeyo mmotoka za buyonjo, okukendeeza ku mugoteko ku nguudo. Tukolagana n'abakugu okuva e China okutuwa amagezi era bagenda kutuwa ne ssente tukole," Kaujju bwe yagambye.

N'asambajja eby'okugoba abasuubuzi abakolera mu buyumba nti tebikwatagana na bagagga kutwala poloti ezo kuzizimbamu. Yagambye nti abakolera mu buyumba [ Kiosk] baabawa dda ebbaluwa ezibalagira okuvaawo .
"Tukola ntegeka emenya buli kayumba ku ppaaka kubanga ebbanga lye twabawa lyaggwako dda ate nga tebuli mu mateeka.

ABASUUBUZI;

Abakolera mu maduuka baagambye nti okuzimba mu poloti emu tekibakosezza kubanga abaali bakoleramu omugagga yabasasula bonna ne bamuviira n'akoleramu by’ayagala.

Bagambye nti olutalo lugenda kuba ku bagagga kukuba bbaati mu poloti endala ku ppaaka .
"Poloti zino tuzikoleramu ate tukimanyi nti abagagga baazifuna mu bukyamu. KCCA yazibaggyako era ffe tusaba KCCA etuwe liizi naffe tuzikulaakulaanye" Emmanuel Muwonge bwe yagambye.

N'ategeeza nti batya nti n'abagagga bayinza okubazinda ne babamenya mu bubba naye tebagenda kukkiriza.
Ate owa Kiosk, Fatumah Mukosi yagambye nti bakimanyi nti KCCA yabagoba naye basaba ebawe ebbanga basobole okwetereeza.

ABA TAKISI;

Ssentebe wa UTODA William Katumba yagambye nti singa abagagga bakkirizibwa okutandika okuzimba ku ppaaka yonna, bagenda kuba bagobeddwa era emirimu gyabwe nga gisigadde mu lusuubo.

Poloti 13 bw’oziggya ku ttaka lya ppaaka enkadde wasigala kakuubo era awo tuba tugobeddwa. Embeera eriwo mu kiseera kino ba ddereeva bw’obagoba badda wa. KCCA eteese n'abagagga abo bakkiriziganye naye nga tebatugobye" Katumba bwe yagambye.

N'ategeeza nti nabo nga ba ddereeva balina obusobozi okwezimbira n'okukulaakulanya ppaaka yaabwe nga bagizimba nga ya kalina singa KCCA ekolagana nabo.

Tetukyayagala mbeera yaakugobaganya baddereeva kubanga omulimu nabo gwe bakola guyamba kinene gavumenti . Twagala tugukulaakulanye nga tulinnyisa omutindo okuva ku takisi tugende ku Cosita ne bbaasi nga ebibuga ebirala bwe bikola. Era abamu twagutandika dda mu kkampuni yaffe eya Awakula Ennume.

 

Abagagga ba Kampala beesomye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...