TOP
  • Home
  • Ono ye kampala
  • Ssente ze munywamu omwenge muziguliremu bannakazadde eddagala - Ingrid Turinawe

Ssente ze munywamu omwenge muziguliremu bannakazadde eddagala - Ingrid Turinawe

Added 6th March 2015

ABAKYALA b’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) bakunze Bannayuganda okubeegattako mu kaweefube w’okuyamba bannakazadde mu kukuza olunaku lwa lw’abakazi ku Ssande nga March 8.

ABAKYALA b’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) bakunze Bannayuganda okubeegattako mu kaweefube w’okuyamba bannakazadde mu kukuza olunaku lwa lw’abakazi ku Ssande nga March 8.

Ingrid Turinawe, akulira abakyala mu FDC, yategeezezza mu lukuhhaana lwa bannamawulire ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi nti abakazi bonna mu ggwanga luno olunaku tebandyonoonye ssente wabula ze bategese okunywamu omwenge n’emicakalo, bazigulemu eddagala mu malwaliro.

Yasabye Bannayuganda babeegatteko mu kusonda ssente ezigenda okuyamba eddwaaliro ly’e Bugiri kuba liri mu mbeera mbi nnyo.

Turinawe yasabye Pulezidenti Museveni nti ssente z’agenda okukozesa mu kutegeka emikolo gy’olunaku e Kabale, yandiziguzeemu eddagala, eggirita, enkampa n’empiso ebiyamba bamaama mu kuzaala, kikendeeze ku bamaama 19 abafiira mu ssanya buli lunaku olw’ebbula ly’ebikozesebwa mu malwaliro n’obugayaavu bw’abasawo ng’ate abamu si bayigirize kimala.

Ssente ze munywamu omwenge muziguliremu bannakazadde eddagala - Ingrid Turinawe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...