TOP

Lwaki emyala gikolebwa ne gataggwa

Added 1st April 2015

BANNAKAMPALA abasula mu bifo by’omwegotteko basattira olwa sizoni y’enkuba etandise.

 Bya HANNINGTON

BANNAKAMPALA abasula mu bifo by’omwegotteko basattira olwa sizoni y’enkuba etandise.

Beeraliikirivu nti endwadde eziva ku mataba n’obujama omuli kkolera, omusujja gw’omu byenda (typhoid) zigenda kwongera okwegiriisa zitte abantu.

Beemulugunya nti emyala eminene egyetaagisa okuzimba tegikoleddwa.

EBIFO EBITERA OKUTAWAANYIZIBWA AMATABA;

Mu ggombolola y’e Lubaga ebitundu byonna omuyita omwala gw’e Nalukolongo omunene abatuuze babyogeddeko bwe bati; Kansala ku ggombolola y’e Lubaga James Ssekidde yagambye nti okutandikira mu Ndeeba, Nalukolongo, Kitebi, Wankulukukku, Nateete byonna bibi.

Ebifo ebirala biri Busega n’ebyalo ebituuka ku luguudo lwa Northern Bypass naddala ebiriko olutobazzi lw’ekitoogo.

Omutuuze w’e Nalukolongo Christine Nalukenge yategeezezza nti amataba mu Lubaga gava ku mwala gw’e Nalukolongo.

“Omwala gumu ogutwala amazzi gonna singa gukolebwa nga bw’olaba emyala emirala togenda kuddamu kulaba ku mataba” 'Nalukenge bwe yawabudde.

N’agattako nti KCCA egezezzaako okugogola omwala gw’e Nalukolongo kubanga ebadde ekozesa tulakita n’abakozi kyokka kiyinza obutamalaawob mataba nga tegunnaba kukolebwa. N’abantu abasuulamu kasasiro nakyo kizibu kinene.

Abantu singa naffe twefaako ne tuba bayonjo tugenda kwewala endwadde eziva ku bujama.

KAWEMPE

Omwala gwa Lubigi omunene gukoze nnyo kyokka abamu ku batuuze n’abakulembeze mu ggombolola eno bagamba nti tegwaggwa.

Kansala w’e Makerere ku ggombolola y’e Kawempe era ng’atuula ku kakiiko akateesa ku byobulamu Hamza Faruk Kazungu yagambye omwala gwa Lubigi gukoze nnyo ku mataba mu ggombolola y’e Kawempe naye ekizibu tegwaggwa.

“Omwala baagukomya wakati. Gye guyiwa amazzi tegwatuukayo nga bazimba. Batuyambe bagukole guggwe, “ Kazungu bwe yagambye.

Yategeezezza nti ebifo ebisinga obubi mu Kawempe era abatuuze gye basattira kati biri mu Muluka gwa Bwaise III ne II. Mulimu zooni nga Kamalimali, Katoogo, Kawaala Kafunda. Ate mu Bwaise II mulimu Kimombasa, Mambule, mu Lufula- Kaleerwe ne Kivvulu.

Kansala yagasseeko nti omwala gwa Lubigi gwalibadde guyambye naye tegukoze kimala kubanga tegwaggwa.

“Gwamalawo obuwumbi bwa ssente 22 naye abaagukola baategeeza nti baagumala bulungi kyokka gwakoma awo. Batuyambe bagumalirize kubanga embeera mbi' Kazungu bwe yagambye.

E NAKAWA

E Kyambogo, Banda, Kinawattaka, Kitintale ne Bugoloobi abaayo amazzi gabasuza tebeebase.

MAKINDYE

Amazzi gasinga kutawaanya batuuze b’e Namuwongo naddala ekitundu ekiri ku luguudo lw’eggaali y’omukka. Wano amazzi gajjula mu buyumba bw’abatuuze ate bangi nga tebalina kaabuyonjo olwo ne gujabagira.

Ebifo ebirala kuliko omwala gwa Nabisaalu, Gaba mu Katoogo, Mu zooni ya Nkere, Katwe Kinyolo, n’ekimu ku kitundu ku Kansanga.

KCCA egezezzaako okukola enguudo n’egimu ku myala naye abamu ku batuuze batawaanyizibwa amazzi olw’okuba baazimba mu lutobazzi. Kino KCCA yakyogeddeko n’etegeeza nti tewali tteeka likkiriza kuzimba mu lutobazzi era abamu batawaanyizibwa amataba olw’okuba baazimba mu kkubo ly’amazzi.

KAMPALA CENTRAL;

Abamu ku bakulembeze n"abatuuze bategeezezza nti ebifo bingi KCCA ebadde ebitereezezza.Ebifo ebizigaddemu amataba kuliko paaka enkadde, Kisenyi, Kamwokya n’ekitundu kya Mukwano.

Badereeva bategeezezza nti basaba babakolere ppaaka ya enkadde n’endala ez’obwannannyini .

Lwaki emyala gikolebwa ne gataggwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...